TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kazimba bamutuuza leero ku Bulabirizi bwa Kampala

Kazimba bamutuuza leero ku Bulabirizi bwa Kampala

Added 8th March 2020

Kazimba bamutuuza leero ku Bulabirizi bwa Kampala

 Dr. Kazimba lwe yatuuzibwa ku Ssande nga Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda. Ku kkono ye Mulabirizi wa South Rwenzori, Jackson Nzerebende.

Dr. Kazimba lwe yatuuzibwa ku Ssande nga Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda. Ku kkono ye Mulabirizi wa South Rwenzori, Jackson Nzerebende.

LEERO ku Ssande, Ssaabalabirizi Samuel Stephen Kazimba Mugalu lw'atuuzibwa ku kifo ky'Omulabirizi wa Kampala oluvannyuma lw'okutuuzibwa ku Bwassaabalabirizi ku Ssande ewedde ku Lutikko e Namirembe.

Kazimba agenda kufuuka Omulabirizi ow'omunaana bukya Obulabirizi bwa Kampala butandikibwawo. Emikolo giri ku Lutikko ya All Saints e Nakasero era ng'okusaba kwa kutandika ku ssaawa 4:00 ez'oku makya. Ssaabalabirizi eyawummudde, Stanley Ntagali y'agenda okukulemberamu emikolo gy'okumutuuza (Kazimba).

Mu ssemateeka w'Ekkanisa ya Uganda, Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda era y'alondebwa okufuuka Omulabirizi wa Kampala ng'ono afuna omumyuka we gw'akola naye ku Bulabirizi.

Ku mulundi guno Abakristaayo baakutuuzibwa mu kkanisa (Lutikko) obutafaananako nga bwe gwali mu kutuuza Dr. Kazimba e Namirembe olw'ensonga z'ebyokwerinda. Wajja kubeerawo abeebyokwerinda abatonotono abakuuma obutebenkevu n'abo abakebera buli ayingira munda okulaba nga talina bintu byabulabe.

Okusinziira ku nsonda mu Kkanisa, ku mulundi guno wagenda kubaawo kukebera kwokka ku buli ayingira naye nga tewali kusaba kkaadi nga bwe kyali ku mulundi guli. N'abeebyobulamu baakubaawo okulaba nga buli ayingira anaaba eddagala eryateekeddwaawo okwetangira endwadde ez'enjawulo omuli n'eya ssennyiga atta owa Coronavirus.

Abagenyi ab'ebitiibwa bangi basuubirwa okwetaba ku mukolo guno okuli abava mu Gavumeti ya Ssaabasajja n'eyaawakati ssaako abagenyi ab'enjawulo n'okusingira ddala mikwano gya Dr. Kazimba okuva ebweru.

Dr Kazimba ye Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda ow'omwenda ate nga ye Mulabirizi wa Kampala agenda okubeera ow'omunaana bukya Bulabirizi buno butandikibwawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?