TOP

Gen. Tumukunde buulidde Bukedde ensonga enzito

Added 8th March 2020

Gen. Tumukunde buulidde Bukedde ensonga enzito

 Gen. Tumukunde ng'ayogera ne munanawulire wa Bukedde Stuart Yiga

Gen. Tumukunde ng'ayogera ne munanawulire wa Bukedde Stuart Yiga

Lt. Gen. Henry Tumukunde ayogedde ku kutemulwa kw'eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga AIGP Felix Kaweesi, n'ayogera ne kusoomoozebwa kw'ayolekedde okuvuganya Museveni, obukambwe bw'atandise okulozaako n'ebirala. STUART YIGA owa Bukedde yayogedde naye ku Lwokutaano e Kololo bwati;

OLUDDE mubwambega. Abantu baagala okumanya eyatta Kaweesi. Tumukunde:

Okufa kwa Kaweesi kwawawaala nnyo olw'ettutumu lye n'obuganzi mu bantu. Waliwo abantu abaamannya n'abaabulijjo abattiddwa mu ngri y'emu nga Kaweesi. Njagala ebya Kaweesi bitwalibwe wamu n'okutemula Afande Muhammad Kirumira, Joan Kagezi, Ibrahim Abiriga, ne Maj. Muhammad Kiggundu.

Okukola omulimu gw'ebyokwerinda ofaanana agenze ku luzzi okukima amazzi. Buli akima amazzi ateekwa okuddayo nago awaka. Bwe kityo buli agenda okunoonyereza ku musango oba obutemu ateekwa okulaga by'azudde.

Era n'abibuulira ensi yonna n'emanya. Ne bwe biba bigaanyi abantu ababuulira nti bigaanyi. Ekizibu kye ndaba abaatumibwa okubuuliriza ku Kaweesi n'abantu abalala tebalina bye boogera bimatiza. Abantu balekeddwa mu kuteebereza nti, bamafiya abaayogerwako Polof. Gilbert Bukenya nti be bakola ebintu ebyo ate tebagambwako.

Ddala ffe abali mu buyinza n'obusobozi bwe tulina nga Gavumenti oyinza okubulako ky'ogamba abantu ku kutta Kaweesi oba Kirumira? Okimanyi nti kumpi bonna abattibwa okuggyako Kirumira baatemulwa mu ngeri y'emu? Abatta Kaweesi, Kagezi, Kiggundu bonna baali ku ppikippiki. Bonna baakozesa mmundu.

Bwe baamala okutta abo, beeyongera okutemula abantu abalala. Emmundu ezo ziva wa? Bboodabooda ziyingira zitya mu gggwanga? Kiki ekikolebwa ku zikaddiye ezitakyakola? Abeebyokwerinda basobolera ddala okwanukula ebibuuzo ebyo.

Era bwe byanukulwa abatta Kaweesi n'abalala baba bategeerekese. (Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga, yatemulwa March 17, 2017 e Kulambiro mu munisipaali y'e Nakawa bwe yali ava mu maka ge okugenda mu lukuhhaana lw'abayizi ba Uganda Christian Yunivasite e Mukono.

Mu mmotokayalimu n'omukuumi we Cpl. Kenneth Erau ne ddereeva we, Geoffrey Mambewa nabo battibwa). Gen. Kale Kayihura bwe yali omuduumizi wa poliisi yabikkirira nnyo abasirikale abaakola ebikolobero. Nafuna obutakkaanya ne Kayihura nga buva ku nkola ya mirimu.

Okugeza waliwo abasirikale abaasobyanga kyokka ne batakangavvulwa kubanga baliko emirimu emirungi gye bakoledde Kayihura ng'omuntu. Nixon Agasirwe Karuhanga yali muntu waabulijjo kyokka Kayihura n'amusiima n'amuyingiza poliisi nga tatendekeddwa, n'amulinnyisa amadaala. Abantu beemulugunya ku Nixon kyokka nga tebalina gye baddukira kubanga yali Kayihura amubikkirira

Kiki ggwe kye wazuula ku kutta abantu?

Tumukunde: Nnagenda mu kifo we battira Kirumira e Bulenga. Abantu bampa amawulire agasingako ku ffe abeebyokwerinda ge twalina. Ekituufu abaamutta baali babiri. Bajjira mu mmotoka. Kwaliko omusajja omuwanvu n'omulala nga mumpi. Omuwanvu ye yakuba Kirumira amasasi.

Mu kunoonyereza byayingizibwamu bboodabooda. Waliwo ebyazuulwa ku mukazi Kirumira gwe yali naye. Ekikulu ebyo byonna byakoma wa? Lwaki ababuuliriza teboogera bye baazuula abantu ne bamanyaekituufu?

Obunafu obwo mu bitongole bya Gavumenti bwe bundeese okwesimbawo. Kubanga nange ne bannamagye abali munda tulina okutya nti engeri Museveni gy'akolamu ebintu tajja kuwaayo buyinza mu mirembe. Ekyo bwe kitabaawo ffenna tujja kuba nga twalwanira bwereere.

Naawe obadde mu byakwerinda. Wakolawo ki?

Tumukunde: Mu Gavumenti mulimu obukundi bw'abantu abatono abalaba buli avaayo okutereeza ebintu ne bava ku kukola emirimu olwo amaanyi gonna ne bagoolekeza oyo okumulwanyisa okutuusa lwe bamusuula. Kizibu okubaako ky'okukola mu Gavumenti oba ekitongole nga tokolera ku birowoozo by'abantu abo abotono, Bukenya be yayita bamafiya. Awava obuzibu ffenna tumanyiiwo.

Okugeza abatemu bakozesa bboodabooda naye lwaki tewassibwawo nkola okulaamba bboodabooda zonna okuva ku kiyingira mu ggwanga?

Ate bboodabooda enkadde eziri mu ggalagi nga tezirina biwandiiko lwaki tezirondoolwa zireme kuddayo kukozesebwa wamu n'ezirina ebiwandiiko?

Abatemu era bakoze mmundu. Tulina obusobozi obukebera mmundu kubanga zonna zibeera n'ennamba. Tuyinza tutya obutamanya mmundu gye ziva? Kayihura nnamusanga mu poliisi ng'amaze emyaka egisoba mu kkumi. Nze nga Minisita w'obutebenkevu nnali nvunaanyibwa ku bitongole ebikessi nga ISO ne ESO sso ssi poliisi.

Noolwekyo tewaaliwo butakkaanya na Kayihura ng'omuntu wabula enkola ye ey'emirimu. Okugeza Kayihura yali tayagala kugamba ku bantu be ab'omunda ne bwe bakola ensobi. Era wadde ffenna twali tukolera wamu nga bwe tusalawo okwenenya ffekka na ffekka ate abalala bakiraba bubi ne bakitwala nti olina gw'olwanyisa.

Lwaki mulowooza nti mmwe mwekka abalina okufuga Uganda? Bagenero bonna bava mu kitundu kye kimu? Bannayuganda mulowooza ebyo tebabiraba?

Tumukunde: Bagenero okuba nga bava mu kitundu kimu hhenda kukyanukula mu ngeri bbiri: Olutalo lwatandikira Bulemeezi era abaalutandika baali basirikale abaali bava mu kitundu kimu. Abalala baava Tanzania. Abeebitundu ebirala baali batono.

Abamu nga Genero Katumba Wamala twabasanga wano ne tubayingiza. Ky'ova olaba okuva ku ddaala lya ‘Brigadier' okudda waggulu bangi ku bo Baganda, olwo amawanga amalala ne galyoka gagoberera. Naye kati amagye gazze gawandiika era embeera eyo egenda kweyongera okukyuka

Okyakolagana ne Pulezidenti Museveni, kuba abamu balowooza y'akutaddewo!

Tumukunde: Lwaki oyagala okumanya oba tukyakolagana? Waliwo omukyala Omuganda yali alemeddwa amakaage n'agamba nti, bannange, omwami wange ono nnali mmwagala nnyo naye ku kino na kino, ne nnemwa ne hhenda.

Pulezidenti Museveni, olaba mmwesimbyeko ate n'ombuuza oba tukyalina enkolagana obanedda? Obuuza Luganda lwa musaayi oba olw'ebyobufuzi?

Ku ky'okuba nga y'antumye ekyo aboogera ebyo bali mu kusaaga kuba, Nze omuntu gwe yasiba omwaka mulamba n'ekitundu, n'ansimba mu kkooti okumala emyaka munaana, lwaki temwagamba nti kakodyo?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...