TOP

Eyasse abakazi 2 bamukutte

Added 9th March 2020

ASHIRAF Ssekasi 27, yakwatiddwa ng'ateeberezebwa okwenyigira mu butemu.

 Ashiraf Ssekasi.

Ashiraf Ssekasi.

Kigambibwa nti Ssekasi ne banne, baAsooka kusuula bibaluwa ebitiisatiisa abantu nga basaba emitwe gy'abakazi e Nsangi n'ekyaddiridde kutandika kutta bantu.

Poliisi okuva e Katwe eyakutte Ssekasi, n'ey'e Nsangi, bambega baazo baamaze ennaku bbiri nga bakuhhaanya obukakafu ku ttemu Ssekasi ne banne lye bazze bakola.

Ku Lwokutaano, Ssekasi yasoose kutwala poliisi ku kyalo Namagoma B n'alaga engeri gye batta, Francisca Nassaazi ate ku Lwomukaaga n'abatwala ku kyalo Ssumba mu ggombolola y'e Kyengera we battira Dorcus Musimenta.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti buli we yabatutte, yabalaze engeri omuntu gye baamutta.

Ssekasi yagasseeko nti ettemu teyalikola yekka era bali ku muyiggo gwa banne abalala.

ENGERI GYE BATTA OMUSAWO

Nassaazi 38, yava awaka ku Lwokubiri nga February 19 ku ssaawa nga 12:30 ez'akawungeezi okugenda okugula EnnyAanya z'agenda okufumbisa. Bwe yavaayo, yayitirako ewa mukwano gwe eyeesudde mmita nga 500 okuva ne w'asula.

Kigambibwa nti, ewa mukwano gwe, yavaayo ku ssaawa nga zigenda mu 3:00 ez'ekiro era mu kkubo ng'adda ewuwe, abatemu we baamutemulira.

Omulambo gwa Nassaazi gwalabibwa abaana abaali bagenda ku ssomero ne bayita abatuuze.

Susan Mukama ye yasoose okutuukawo n'ayita abakulembeze ku kyalo ne poliisi n'ekizuula nti ye Nassaazi gwe baali bAakazaako erya Musawo Massa.

Onyango yagambye nti, omulambo gwa Nassaazi gwasangibwa gusaliddwaako okutu kumu nga gutemeddwa embale bbiri ez'amaanyi ku mutwe nga waliwo n'ennyaanya mu kaveera ze yali ava okugula.

Nassaazi yali akolera ku ddwaaliro ly'e Nsambya kyokka ennaku ezo yali yavaayo nga yafuna omulimu omulala.

GYE BATTA MUSIMENTA

Ssekasi, bwe yatuuse ku kyalo Ssumba, yalaze abaserikale bwe batta Musimenta. Yagambye nti y'omu ku bakazi be bAateeka ku lukalala lwabwe era bwe baamulaba ng'agula kasooli omwokye nga February 6, 2020, ne batandika okumulinnya akagere ne bamuttira mu kasooli okumpi n'ennyumba ye.

Musimenta, yali yaakafuna omulimu ku dduuka ly'Abayindi erya Computer Hub ku Kampala Road era we yava okugenda ewa Mukwano gwe e Kololo oluvannyuma gye yava okudda awaka.

Bba James Bwambale yategeeza Bukedde nti, yatuuka awaka nga mukyala we tanadda. Omwana yali mulwadde ne batandika okukuba essimu ye nga teriiko.

Enkeera yagenda ku mulimu gye yali akolera ne bamutegeeza nti yali yavuddewo mangu.

Onyango yagambye nti, Ssekasi bamuvunaana emisango ebiri egy'obutemu ogumu guli ku ffayiro CRB 88/2029 ate omulala guli ku CRB 121/2020.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...