TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tukuleetedde ebifaananyi by'abakazi Diamond Platinum bazze aganza n'ensonga ezibaawukanya

Tukuleetedde ebifaananyi by'abakazi Diamond Platinum bazze aganza n'ensonga ezibaawukanya

By

Added 9th March 2020

Tukuleetedde ebifaananyi by'abakazi Diamond Platinum bazze aganza n'ensonga ezibaawukanya

 Zari ne Diamond Platinum nga bakyali mu biseera byabwe eby'eddembe

Zari ne Diamond Platinum nga bakyali mu biseera byabwe eby'eddembe

NGA tujaguza olunaku lw'abakyala n'omuyimbi Diamond Platnumz okuva e Tanzania okujaguza kuno tekwamulese mabega.

 iamond latinum ne anasha onna nga bakyali  mu mukwano Diamond Platinum ne Tanasha Donna nga bakyali mu mukwano

Ono yagenze ku mukutu gwe ogwa Instagram n'agatta ebifaananyi by'abakazi bona beyali ayagaddeko mu bulamu bwe nga kuno kuliko maama we amanyiddwa nga maama dangote,baganda be okuli Esma Platnumz wamu ne Queen Darleen,olwo n'azzaako abakazi beyali azaddemu abaana okuli Zari,Hamisa Mobetto,Tanasha Donna,Wema Sepetu n'alyoka asembyayo omwana we amanyiddwa nga Tifah.

 iamond latinum ne ari wamu nabaana baabwe ifah ne ellan Diamond Platinum ne Zari wamu n'abaana baabwe Tifah ne Nellan

Mubuwandiike yategeezezza nti olunaku lw'abakya eri ensi yona,olunaku nduwayo eri abakyala bano abavumu,abakyala abalina engeri eyenjawulo eri obulamu bwange,banfula okubeera nga nkola nnyo,nawayo,nakola mu bukyamu,nali musanyufu nga bwenkaba.

 abastian unda Sabastian Tunda

Wabula ku nkomerero yabyona lwali lugendo lwange olwawandikibwa nqa bwenina okubeera kunsi okubeera nga mpitibwa Diamond Platnumz.

Buli muntu alina ekirungi mu bulamu bwe,era yiga okukiriza n'ekyo era wesige buli muntu eyakwatako ku bulamu bwe kubanga teyamala gajja bwatyo era kiba kyawandikibwa mukama Katonda akuyambe akutuuse awo wakutusiza.

Wabula abakyala bano kyebangatako mu bulamu bwange yanjawulo,kyova olaba omukwano gwabwe wamu n'omuwendo gwabwe gujakusigala mpaka ku mutima gwange,kubanga bano bakyala bamugundo nnyo.Olunaku lwabakyala olulungi eri abakyala bona abalungi munsi eno.

Nga ffe Bukedde tusazewo okunonyereza ku bakyala Diamond bano bagamba abaleta enjawulo mu bulamu bwe tusobole okubabulira ebbanga lyamaze nabuli omu.

 uddah ono naye yali muganzi wa iamond Huddah ono naye yali muganzi wa Diamond

WEMA SEPETU 

Ono nzalwa ya Tanzania nga yemukazi Diamond gweyasooka okwagala nga yakatandika okumanyikibwa mu by'okuyimba wabula omukwano gwabwe gwalingamu okusika omuguwa era nga bamanyi okukyawagana ne bamala ne baddamu ng'abagalana abalala bona.

Ogw'asooka okwawukana Diamond yayagala mukwano gwa Wema era n'akitegeera n'asooka amulekamu ko,oluvanyuma lw'okwegayirira bamala ne badingana bulungi nnyo.Wabula tewayita kabanga ne baawukanira ddala nga omuwala agamba nti omusajja mwenzi nnyo ate nga ne Diamond yekwasa nti omukazi aganye okumuzalira.

  ZARI HASSAN

Zari munnayuganda nga mukazi mukozi era abantu abasinga bagamba nti omukwano gwa Diamond ne Zari gwe mukwano Diamond gweyaberamu ko ogwaddala kubanga bali basubiira mbaga nga balwawo nga bagalana ate n'amuzalamu n'abaana babiri okuli omulenzi n'omuwalaTifah ne Nillan.

Ono bayawukana oluvanyuma lw'okukizuula nti Diamond yayagala Hamisa Mobetto ate n'amuzalamu n'omwana amanyiddwa nga Delan.

Diamond bweyali ayogera ko ne munamawulire omu yategeeza nti mu bulamu bwe yevuma okutagala wabweru ate n'atakozesa kapiira kubanga kyamulekesawo omukazi gweyali ayagala ennyo,okumanya Zari yakyawa Diamond ne mukaseera kano takyamuganya kulaba ku baana be.

HAMISA MOBETTO 

 amisa obeto Hamisa Mobeto wano nga bakyali mu mukwano ne Diamond Platinum

Ono nzalwa ya Tanzania nga wabyamisono,muyimbi nga atera okubeera ne mu vidiyo z'abayimbi nga ayalabikirako mu vidiyo ya Diamond eya Salome,era kigambibwa nti ono weyamukwanira n'amufunisa n'olubuto wadde teyaberako naye kubanga yamuzalamu mu kaseera weyali abeera ne Zari era webayawukana mwana muwala ono yali amanyi yanadda mu maka wabula ekitasoboka.Amuyinamu omwana amanyiddwa nga Deelan.

TANASHA DONNA

Ono nzalwa ye Kenya nga yali mukozi wa leediyo era nga muyimbi,ye mukyala abadde abeera ne Diamond mu kaseera kano nga olugambo luyitingana nti bayawukanye naye nga babadde bagenda kuweza myaka ebiri nga bali bona

Ono yawandika obubaka obulaga nti bawukanye oluvannyuma lw'okukwata Diamond nga amwendako enfunda eziwera,era wetogerera yazeyo ewabwe e Kenya.

Abamu ku bakazi abalala Diamond baze ayagalako naye nga talwa nabo nnyo kuliko:Tunda,Jokate,Huddah nga munakenya.

 

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.