TOP
 • Home
 • Amawulire
 • Omubaka Ssebulime akawang'amudde! 'Ebya Babirye byaggwa kati nnoonya mukazi mulala'

Omubaka Ssebulime akawang'amudde! 'Ebya Babirye byaggwa kati nnoonya mukazi mulala'

Added 10th March 2020

EYALI bba wa Judith Babirye agenze mu balonzi e Buikwe n’abategeeza nti; Ebya Babirye byaggwa, kati nnoonya mukazi mulala.

 Ssebulime ng’ayogera eri abatuuze.

Ssebulime ng’ayogera eri abatuuze.

Paul Musoke Ssebulime nga y'akiikirira Buikwe North yavuddeyo ne yeerangirira mu lubu lw'abasajja abakyanoonya abakazi ab'okuwasa. Ssebulime yategeezezza nti ye musajja era alina okusajjalaata.

Yagasseeko nti tagattibwangako mpeta ne mubaka munne Judith Babirye, wabula yamwanjula bwanjuzi era talina kimukugira kufuna mukyala mulala.

Ssebulime eyabadde mu ssuuti yassizza abalonzi enseko bwe yabategeezezza nti musajja ali ‘potebo' era ng'amannya ge kati bamuyita Paul Potebo n'agattako nti akyali mbooko era asaza kimu nga kabiriiti.

Yakyukidde abasajja n'abagamba nti kimanyiddwa nti obulungi bw'omusajja buba mu nsawo n'asekerera abataleka za kameeza kyokka ne basanga enkoko n'ennyama nga bakyala baabwe babifumbye. "Abagamba nti nnawasa, mukimanye nti omusajja alina ebbeetu okusajjalaata.

Ekirala gwe nnawasa yali mwannyinaze? Kale gwe kiruma akwate w'akwata oba kale atakolangako ku bwenzi oba atayendangako ajje gyendi mmuwe emitwalo etaano," Paul Ssebulime bwe yagambye.

Ssebulime yabadde asisinkanye abalonzi era abatuuze b'oku byalo okuli Nava, Mukwanya ne Kyabaggu mu divizoni y'e Njeru mu disitulikiti ye Buikwe n'ekigendererwa eky'okulongoosa oluzzi olumanyiddwa nga Nava era ono yasoose kwambalira Basiraamu abaamummye emizindaalo okwogerako eri abalonzi be ku bulamu bwe gye butambulamu ssaako n'ettu lye yabadde abeetikkidde.

 sebulime ngayogera eri abatuuze    la  ze wata nzi i ul nye  e osa a zi bu e eze    abaamuvumirira ne mubaka munne udith abirye nga bwe beewasa kye yayise eambo nagamba nti baatuuka nokubitegeeza omukulembeze weggwanga bwe yajja e jeru omwaka oguwedde okutongoza amakolero awadde abavubuka akakadde kamu nabakyala akakadde kamu mulamuzi live azaarwe ukwaya yagattulula ababaka u dith abirye ne usoke ebulime gye buvuddeko nga yeesigama ku nsonga ezaaweebwa sebulime nti okuva bwe baafumbiriganwa yeegatta ne abirye mu nsonga zabafumbo emirundi egibalirwa ku ngalo ate nga abirye akikola kwolwo lwokka ye lwayagadde aabeera bombi okumala emyezi ebiri egyawera mu u gust 2018 abirye yava awaka okumala emyezi ebiri nakomawo nga ecember 1 2018 yokka    awaka yamalawo ennaku ntono nagenda nga ecember 22 2018 kuva olwo abirye teyadda wa sebulime sebulime yagamba nti abirye yali tamwesiga nga yatuuka nokumwekengera nti ayinza okuganza muwala we gwe yamusanga naye agaananga muwala we okusula awaka ngajja misana akawungeezi nagenda nga abirye agamba nti ebulime ayinza okumuganza amugobako emikwano gye yamusanga nagyo ngatya nti abamu ajja kubaganza te ne abirye bwe yava awaka teyaddayo kumuwuliza teyafaayo kumubuulira gyali teyamukubira ku ssimu wadde okumuwandiikira obubaka ku ssimu oba okumutu mira omuntu usoke sebulime alina omuky ala nalongo ukia eyalaajana en nyo idith abirye we yali atwalira bba era gye buvuddeko omukyala yalaga nga baddianye Ssebulime ng'ayogera eri abatuuze.  

Yayambalidde n'abakulembeze abaamuvumirira ne mubaka munne Judith Babirye nga bwe beewasa kye yayise ehhambo n'agamba nti baatuuka n'okubitegeeza omukulembeze w'eggwanga bwe yajja e Njeru omwaka oguwedde okutongoza amakolero.

Yawadde abavubuka akakadde kamu n'abakyala akakadde kamu. Omulamuzi Olive Kazaarwe Mukwaya yagattulula ababaka Judith Babirye ne Musoke Sebulime gye buvuddeko nga yeesigama ku nsonga ezaaweebwa Ssebulime nti okuva bwe baafumbiriganwa yeegatta ne Babirye mu nsonga z'abafumbo emirundi egibalirwa ku ngalo ate nga Babirye akikola kw'olwo lwokka ye lw'ayagadde.

Baabeera bombi okumala emyezi ebiri egyawera mu August 2018. Babirye yava awaka okumala emyezi ebiri n'akomawo nga December 1, 2018.

Kyokka awaka yamalawo ennaku ntono n'agenda nga December 22, 2018. Okuva olwo Babirye teyadda wa Ssebulime.

Ssebulime yagamba nti Babirye yali tamwesiga nga yatuuka n'okumwekengera nti ayinza okuganza muwala we gwe yamusanga naye.

Yagaananga muwala we okusula awaka ng'ajja misana akawungeezi n'agenda nga Babirye agamba nti Sebulime ayinza okumuganza.

Yamugobako emikwano gye yamusanga nagyo ng'atya nti abamu ajja kubaganza. Ate ne Babirye bwe yava awaka teyaddayo kumuwuliza, teyafaayo kumubuulira gy'ali, teyamukubira ku ssimu wadde okumuwandiikira obubaka ku ssimu oba okumutumira omuntu.

Musoke Ssebulime alina omukyala Nnalongo Lukia eyalaajana ennyo Jidith Babirye we yali atwalira bba era gye buvuddeko omukyala yalaga nga baddihhanye.

Ebirala............................ 

Kkooti egattuludde Judith Babirye ne Ssebulime
Babirye nze mmutadde agende - Niiwo

Okwanjula kwa Judith Babirye bakugaanye ewa kitaawe: Akututte mu woteeri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...