
Bano okuyimbulwa kiddiridde Bebe Cool okubalambula n'abasonyiwa n'agamba nti ayagala babeere eky'okulabirako eri bavubuka bannaabwe abeeyisa bwe bati nga bagufudde muze okukuba abayimbi abawagira NRM obucupa mu bivvulu.
Eky'okulabirako Bebe ky'ayogerako kyakubasonyiwa gusoose ate ogusembye nti bwe baliddamu ne bakwatibwa basibira mu kkomera Luzira.
Bebe Cool abadde ku Poliisi ya Jinja Road. Abuuliridde abavubuka bano abamu ne bamutegeeza nti abasinga baategeeza tebalina mirimu nti babe bagumiikiriza kubanga ne bwe giba mirimu bajja kugifuna kasita beekuuma nga balamu n'okwewala okwenyigira mu bikolwa ebikyamu.
Ategeezezza nti yatuukiriddwa bazadde baabwe, bakyala baabwe n'abeng'anda abalala nga balaajana babayimbulire abantu baabwe kwe kusalawo akikole nga bwe baasabye.
Gye byaggweredde nga batandise kuyimba nnyimba zimuwagira nga Wire Wire nga bwe bamwebaza okubawonya ekkomera lye baamazeemu ennaku esatu okuva lwe baabakwatira mu kisaawe kya Lugogo Cricket Oval ekibbiitu kya Cindy gye kyali ku Lwomukaaga.







