TOP

Paapa avuddeyo ku bya Coronavirus

Added 10th March 2020

PAAPA Francis akunze bafaaza obutaba batiitiizi bave mu bigo bagende babudebude n’okusabira abakwatiddwa obulwadde bwa ssenyiga omupya (COVID 19 ) atirimbula abantu mu bitundu by’ensi ebitali bimu.

 Paapa Francis

Paapa Francis

‘'Tusaba Katonda awe bafaaza obuvumu bagende balambule n'okubudabuda abalwadde… era bawerekere n'abasawo n'abantu abalala abali ku mulimu gw'okujjanjaba abakwatiddwa obulwadde buno'' Paapa Francis bwe yategeezezza  ng'ali mu mmisa eyabaddemu abantu ab'olubatu eyabadde mu kibangirizi kya St. Peters Square e Vatican.

E Italy esangibwa ekitebe kya Klezia e Vatican  ssenyiga yakatta abantu 463 ng'ate abasoba mu 9,000 balwadde.

Y'emu ku mawanga 100 agaalumbiddwa obulwadde buno obwatandikira e China ku nkomerero y'omwaka oguwedde. Bwakakwata abantu emitwalo 11 mu mawanga agatali gamu.

Italy yataddewo kalantiini w'abantu obutamala geetaaya ng'etangira obulwadde buno era mu kiseera ky'okusaba kuno ku Lwokubiri abantu baabadde ba lubatu ng'abasinga tebambadde bukokolo nga bwe kiri mu bitundu ebirala ebirimu ssenyiga ono g'ali.

Mu Uganda ssenyiga tanatuuka kyokka naye eri ku bunkenke nga yazizzaayo ba yinvesita 22 ku Mmande olw'obutagondera biragiro byassibwawo gavumenti kutangira bulwadde buno.

Buli ajja mu Uganda alina kusooka kukeberwa okuzuula oba tabulina.

Gavumenti ya Italy yagaanyi abantu okumala gatambula era n'ebagamba nti n'okwewala abalwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....