TOP

ISO ekutte 2 ku by'okwokya essomero lya Gayaza

Added 11th March 2020

Bambega ababuuliriza ku muliro ogwayokezza ebisulo bibiri mu Gayaza High School bakutte abasajja babiri abagambibwa okuba n’akakwate ku muliro guno.

Bambega ababuuliriza ku muliro ogwayokezza ebisulo bibiri mu Gayaza HighSchool bakutte abasajja babiri abagambibwa okuba n'akakwate ku muliro guno.

Okukwata abasajja bano kyongedda okunyweza ebigambibwa nti ekisulo kya Kivebulaya ekyayidde ku Ssande mwabaddemu abayizi basatu abalumiriza nti baalabye omusajja ng'afuluma ekisulo oluvannyuma n'atambula ng'adda ku ludda lw'ekisaawe ky'omupiira ekiri munda mu Gayaza.

Kyokka ekisulo ekyasoose okuggya ku Lwokutaano ekya Corby, kirowoozebwa nti omuliro gwavudde ku waya z'amasannyalaze.

Dayirekita w'ekitongole ekikessi ekya ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yakakasizza okukwatibwa kw'abantu babiri.

Yagambye nti abaakwatiddwa ye Jonathan Mayanja eyakwatiddwa e Kawempe ne Abudul Lukwago gwe baggye e Makindye. Lukwago ne Mayanja, kigambibwa nti bazzi ba misango abasibiddwa enfunda ez'enjawulo ku byekuusa ku bubbi.

Kigambibwa nti oluvannyuma lw'omuliro, DISO w'e Kasangati yasindise bambega mu Gayaza era ne bafuna amawulire okuva ku bayizi nti waliwo omusajja eyalabiddwa ng'ava mu kisulo ekyakutte omuliro.

Kigambibwa nti bambega baayogedde n'abatuuze ababeera okumpi n'essomero ne babategeeza nga bwe baliko abasajja babiri be baalabye ne babeekengera kubanga babadde tebamanyiddwa mu kitundu.

Kigambibwa nti bambega baatandikidde wano okulondoola abasajja abo ne babakwata.

Kyategeezeddwa nti ebyakazuulwa biraga nga bombi, Mayanja ne Lukwago baabadde mu bitundu by'e Gayaza mu kiseera omuliro we gwayokedde ebisulo.

Kaka yagambye nti baabadde tebannabaggyako siteetimenti kyokka mu bye bagenda okubuuzibwa kwe kunnyonnyola kye baabadde banonye e Gayaza ne lwaki baayingidde n'okufuluma essomero nga tebayise mu wankaaki.

Kaka yagambye nti, bali mu kunoonyereza okuzuula akakwate Mayanja, Lukwago ne bannaabwe abalala ke balina ku muliro guno.

Ebitongole by'ebyokwerinda bitadde amaanyi mu kubuuliriza ku muliro ogwayokezza e Gayaza.

Ku ssomero wassiddwawo ebimotoka bibiri ebizikiriza omuliro gattako ebitongole bya poliisi ebirala okuli poliisi ekkakkanya obujagalalo, poliisi y'ebidduka, ekitongole kya poliisi ekikuh− haanya n'okwekebejja ebizibiti, bambega ba poliisi, ekitongole ekirwanyisa obutujju, miritale poliisi, ISO ne CMI.

Omuduumizi wa poliisi y'e Kasangati etwala Gayaza, Edison Muhangi yagambye nti, okusooka baabadde bateebereza nti masannyalaze ge gaavuddeko obuzibu kyokka oluvannyuma baasazeewo okugaziya okunoonyereza batunule ku bintu ebirala ebigambibwa nti byandiba nga kwe kwavudde omuliro.

Bambega baagambye nti bakaluubiriziddwa okunoonyereza kubanga essomero lya Gayaza teririna kkamera wadde ng'abaddukanya amasomero n'ebifo omubeera abantu abangi baludde nga babakubiriza okubissaamu kkamera.

Gayaza High litudde ku bugazi bw'ettaka eriwerako yiika 107 kyokka ettaka teririiko kikomera. Abatuuze n'abantu abalala bakozesa obukubo obuyita mu ttaka ly'essomero nga bwe baagala.

Abakuumi b'esomero baategeezezza Bukedde nti nabo bakaluubirirwa omulimu gw'okukuuma essomero eddene nga teririiko lukomera era emirundi mingi bakutte abantu abasaalimbira ku ssomero, wadde nga bazuulwa nga tebalina kigenderwa kya kutuusa bulabe ku bayizi oba okwonoona ebintu by'essomero.

Muhangi yagambye nti nabo nga poliisi baafunye okukaluubirizibwa mu kunoonyereza kwabwe n'agamba nti, baabadde n'essuubi nti kkamera z'essomero kwe bagenda okutandikira mu kunoonyereza kwabwe.

BAKYUSIZZA ABASERIKALE

Muhangi yagambye nti baludde nga bafuna okwemulugunya okuva mu bakulu abatwala essomero ly'e Gayaza nga tebaagala kubawa baserikale basajja wabula abakazi okuva essomero bwe liri ery'abawala. N'agamba nti kati abakuumi baabakyusizza ne batwalayo abakazi.

OKUZZAAWO EBISULO EBYAYIDDE

Daniel Mukasa Ddamulira ssentebe w'akakiiko akaalondeddwa okuzzaawo ekisulo kya Corby yagambye nti eggulo baatuuzizza olukiiko ku ssomero okutandika emirimu.Baalonze obukiiko busatu okuli akagenda okunoonya ssente, akagenda okukola ku nsonga z'ebyamawulire n'akagenda okukola emirimu egy'ekikugu.

Akakiiko k'ebyamawulire kakulirwa Robina Kizito akulira essomero ate abalala abakaliko ye Jackie Asiimwe, Maurice Mugisha ne Susan Nsibirwa.

Akakiiko akanoonya ssente kakulirwa Robert Wagwa Nsibirwa ow'e Mmengo, Elizabeth Ntege, ssentebe w'olukiiko lw'essomero olufuzi Sarah Barbara Mayanja, ssentebe w'olukiiko lw'abazadde n'abasomesa Dr. Rose Kaggwa n'omuwanika w'olukiiko lw'abazadde n'abasomesa Peter Kyambadde.

Akakiiko k'ekikugu kakulirwa Ying. Mugisha ne katuulako Ying. Dr. Florence Lubwama, Dr. Najib Lukoya ne Ying. Philis Kwesiga.

Ddamulira yagambye nti bajja kutuula buli luvannyuma lwa nnaku 10 okulaba bye bakoze n'okuteesa ku kiddako.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Bambega ababuuliriza ku muliro
ogwayokezza ebisulo bibiri mu
Gayaza HighSchool bakutte abasajja
babiri abagambibwa okuba
n'akakwate ku muliro guno.
Okukwata abasajja bano
kyongedda okunyweza ebigambibwa
nti ekisulo kya Kivebulaya
ekyayidde ku Ssande mwabaddemu
abayizi basatu abalumiriza
nti baalabye omusajja ng'afuluma
ekisulo oluvannyuma n'atambula
ng'adda ku ludda lw'ekisaawe
ky'omupiira ekiri munda mu
Gayaza.
Kyokka ekisulo ekyasoose okuggya
ku Lwokutaano ekya Corby,
kirowoozebwa nti omuliro gwavudde
ku waya z'amasannyalaze.
Dayirekita w'ekitongole ekikessi
ekya ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda
yakakasizza okukwatibwa
kw'abantu babiri. Yagambye nti
abaakwatiddwa ye Jonathan Mayanja
eyakwatiddwa e Kawempe
ne Abudul Lukwago gwe baggye e
Makindye.
Lukwago ne Mayanja, kigambibwa
nti bazzi ba misango abasibiddwa
enfunda ez'enjawulo ku
byekuusa ku bubbi.
Kigambibwa nti oluvannyuma
lw'omuliro, DISO w'e Kasangati
yasindise bambega mu Gayaza
era ne bafuna amawulire okuva
ku bayizi nti waliwo omusajja
eyalabiddwa ng'ava mu kisulo
ekyakutte omuliro.
Kigambibwa nti bambega
baayogedde n'abatuuze ababeera
okumpi n'essomero ne babategeeza
nga bwe baliko abasajja babiri
be baalabye ne babeekengera
kubanga babadde tebamanyiddwa
mu kitundu.
Kigambibwa nti bambega
baatandikidde wano okulondoola
abasajja abo ne babakwata.
Kyategeezeddwa nti ebyakazuulwa
biraga nga bombi, Mayanja ne
Lukwago baabadde mu bitundu
by'e Gayaza mu kiseera omuliro
we gwayokedde ebisulo.
Kaka yagambye nti baabadde
tebannabaggyako siteetimenti kyokka
mu bye bagenda okubuuzibwa
kwe kunnyonnyola kye baabadde
banonye e Gayaza ne lwaki baayingidde
n'okufuluma essomero
nga tebayise mu wankaaki.
Kaka yagambye nti, bali mu
kunoonyereza okuzuula akakwate
Mayanja, Lukwago ne bannaabwe
abalala ke balina ku muliro guno.
Ebitongole by'ebyokwerinda
bitadde amaanyi mu kubuuliriza
ku muliro ogwayokezza e Gayaza.
Ku ssomero wassiddwawo ebimotoka
bibiri ebizikiriza omuliro
gattako ebitongole bya poliisi
ebirala okuli poliisi ekkakkanya
obujagalalo, poliisi y'ebidduka,
ekitongole kya poliisi ekikuh−
haanya n'okwekebejja ebizibiti,
bambega ba poliisi, ekitongole
ekirwanyisa obutujju, miritale
poliisi, ISO ne CMI.
Omuduumizi wa poliisi y'e
Kasangati etwala Gayaza, Edison
Muhangi yagambye nti, okusooka
baabadde bateebereza nti masannyalaze
ge gaavuddeko obuzibu
kyokka oluvannyuma baasazeewo
okugaziya okunoonyereza
batunule ku bintu ebirala
ebigambibwa nti byandiba nga
kwe kwavudde omuliro.Bambega
baagambye nti bakaluubiriziddwa
okunoonyereza kubanga essomero
lya Gayaza teririna kkamera
wadde ng'abaddukanya amasomero
n'ebifo omubeera abantu
abangi baludde nga babakubiriza
okubissaamu kkamera.
Gayaza High litudde ku bugazi
bw'ettaka eriwerako yiika 107 kyokka
ettaka teririiko kikomera.
Abatuuze n'abantu abalala bakozesa
obukubo obuyita mu ttaka
ly'essomero nga bwe baagala.
Abakuumi b'esomero baategeezezza
Bukedde nti nabo bakaluubirirwa
omulimu gw'okukuuma
essomero eddene nga teririiko
lukomera era emirundi mingi
bakutte abantu abasaalimbira ku
ssomero, wadde nga bazuulwa nga
tebalina kigenderwa kya kutuusa
bulabe ku bayizi oba okwonoona
ebintu by'essomero.
Muhangi yagambye nti nabo
nga poliisi baafunye okukaluubirizibwa
mu kunoonyereza
kwabwe n'agamba nti, baabadde
n'essuubi nti kkamera z'essomero
kwe bagenda okutandikira mu
kunoonyereza kwabwe.
BAKYUSIZZA ABASERIKALE
Muhangi yagambye nti baludde
nga bafuna okwemulugunya
okuva mu bakulu abatwala essomero
ly'e Gayaza nga tebaagala
kubawa baserikale basajja wabula
abakazi okuva essomero bwe liri
ery'abawala. N'agamba nti kati
abakuumi baabakyusizza ne batwalayo
abakazi.
OKUZZAAWO EBISULO EBYAYIDDE
Daniel Mukasa Ddamulira ssentebe
w'akakiiko akaalondeddwa
okuzzaawo ekisulo kya Corby
yagambye nti eggulo baatuuzizza
olukiiko ku ssomero okutandika
emirimu.Baalonze obukiiko busatu
okuli akagenda okunoonya ssente,
akagenda okukola ku nsonga
z'ebyamawulire n'akagenda okukola
emirimu egy'ekikugu.
Akakiiko k'ebyamawulire
kakulirwa Robina Kizito akulira
essomero ate abalala abakaliko ye
Jackie Asiimwe, Maurice Mugisha
ne Susan Nsibirwa.
Akakiiko akanoonya ssente
kakulirwa Robert Wagwa Nsibirwa
ow'e Mmengo, Elizabeth Ntege,
ssentebe w'olukiiko lw'essomero
olufuzi Sarah Barbara Mayanja,
ssentebe w'olukiiko lw'abazadde
n'abasomesa Dr. Rose Kaggwa
n'omuwanika w'olukiiko
lw'abazadde n'abasomesa Peter
Kyambadde.
Akakiiko k'ekikugu kakulirwa
Ying. Mugisha ne katuulako Ying.
Dr. Florence Lubwama, Dr. Najib
Lukoya ne Ying. Philis Kwesiga.
Ddamulira yagambye nti bajja
kutuula buli luvannyuma lwa
nnaku 10 okulaba bye bakoze
n'okuteesa ku kiddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...