TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi afiiridde mu ddwaaliro e Kaliisizo n'asattiza abasawo

Omukazi afiiridde mu ddwaaliro e Kaliisizo n'asattiza abasawo

Added 12th March 2020

Omukazi afiiridde mu ddwaaliro e Kaliisizo n'asattiza abasawo

Gaudensia Babirye Namata 20 yafumbirwa bba Geoffrey Kangavve omwaka oguwedde era n'afunirawo olubuto. Bwe yalabye lutuuse okuzaala kwe kuddayo mu bakadde be e Kabaale - Kifukamiza okumpi n'eddwaaliro ly'e Kaliisizo, nga yeetegekera okuzaala omwana we asoose.

Kyokka wadde yabadde kumpi n'eddwaaliro ekyamusobozesezza okwanguwa okutuukayo nga lutandise okumuluma, mukazi wattu teyalusimattuse n'afiira mu lutalo nga kigambibwa nti abasawo baamulagajjalidde ne badda mu mboozi nga mukazi wattu alaajana ayambibwe.

Babirye ne bba babadde batuuze e Lwamaggwa mu ssaza ly'e Kooki. Poliisi y'e Kaliisizo mu disitulikiti y'e Kyotera yayitiddwa bukubirire okukakkanya embeera mu ddwaaliro lya Gavumenti e Kalisizo olw'abalwadde n'abajjanjabi abaatabuse ne batandika okwekalakaasa n'okukubaakuba enzigi n'amadirisa mu woodi y'abakyala abazaala nga baagala okugajambula abasawo be baabadde balumiriza okulagajjalira Babirye n'afiira ku kitanda kwe yabadde aboyaanira n'olubuto nga tebamufuddeeko.

Olutalo luno lwabaluseewo ku ssaawa kkumi ng'obudde busaasaana mu kiro ekyakeeseza Olwokusatu, nga kyaddiridde Namata okufiira ku kitanda n'olubuto lwe munda abasawo bwe baagaanye okumukwatako wadde ng'obwedda abawanjagira nga kw'otadde ne kitaawe Ssaalongo Federiko Bbaale eyabasabye bayite Dokita alongooseemu muwala we omwana.

Kyategeezeddwa nti Namata ne nnyina wamu ne kitaaawe Ssaalongo ne Nnaalongo Federiko Bbaale baatuuse mu ddwaaliro lino ng'essaawa zikunukkiriza mu ssatu n'ekitundu ez'ekiro ng'alumwa olubuto lw'okuzaala. Bwe baatuuse ne babawa ekitanda omulwadde kwe yatuukidde.

Ku ssaawa mwenda olubuto lweyongedde okumusimba ng'eno bw'alaajanira abasawo okumuyamba kyokka kigambibwa nti nga tebamufaako! Abamu ku bajjanjabi balumiriza nti bakira abazadde ne muwala waabwe balaajanira abasawo kyokka nga bo bali mu ntebe zaabwe batudde n'okunyumya emboozi ng'eno bwe baseka.

Nnyina yalabye embeera esusse n'asalawo afulume eddwaaliro yeenoonyeze Dokita amuyambe kyokka nti abasawo baamutegeezezza nti dokita yabadde akooye nga yeebase!

Kyategeezeddwa nti ku ssaawa nga zinaatera okuwera kkumi ez'ekiro omuwala yakutte nnyina mu kifuba bwatyo n'assa omukka ogw'enkomerero ng'abasawo n'abalala abaabadde mu ddwaaliro bamulaba.

Wano abasawo baasituse ne beegayirira abalala abaabadde mu woodi okubayambako okumusitula bamuteeke mu kasenge olwo ne bakubira ne dokita akulira eddwaaliro lino Dr. Emma Sekyeru eyasanze ng'omuwala amaze okufa era n'abanenya obutamuyita mu budde!

Wano olutalo we lwatandikidde era poliisi y'e Kaliisizo eyabadde eduumirwa Innocent Tusiime ye yataasizza embeera ng'abajjanjabi n'abalwadde bavudde ku bitanda baagala okugajambula abasawo abakyala ababiri abaabadde beggalidde mu kasenge era ne bakukunulwayo ne batwalibwa ku kitebe kya poliisi e Kaliisizo ne baggalirwa! Abasawo abaakwatiddwa ye; Betty Nakamatte ne Faith Namubiru bombi bagguddwaako omusango gw'okulagajjalira owoolubuto n'afiira mu woodi. Babirye y'omu ku bakazi abangi abafiira mu ssanya mu Uganda.

Okusinziira ku kunoonyereza kwa UNICEF, ku buli bakazi 49 abazaala, omu afiira mu ssanya olw'ensonga ezitali zimu, era ku buli bakazi 100,000 abazaala, 440 bafiira mu ssanya.

Aboobuyinza okwabadde Ssentebe wa disitulikiti y'e Kyotera Patrick Kintu Kisekulo, Meeya Sande Richard Ntambaazi, akulira ebyobulamu e Kyotera Dr. Edward Muwanga, RDC wa Kyotera Maj. David Matovu n'abalala baagenze mu ddwaaliro okwetegereza.

Kisekulo yategeezezza nti embeera y'obulumi okufuna obujjanjabi mu ddwaaliro e Kaliisizo eruddeng'ebatakuza emitwe era baalagidde buli musawo okutandika okwambala yunifoomu okuli erinnya lye kiyambe abalwadde okumanyanga abasawo abazibu.

Maj. Matovu yagambye nti baalagidde poliisi ekole okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyabaddewo. Omulambo gwa Namata gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Masaka okwekebejjebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...