TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi esisinkanye abayizi b'essomero lya Gayaza High

Poliisi esisinkanye abayizi b'essomero lya Gayaza High

Added 12th March 2020

Poliisi esisinkanye abayizi b’essomero lya Gayaza High

 Sabiti Muzeyi

Sabiti Muzeyi

AMYUKA omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeyi asisinkanye abayizi b'essomero lya Gayaza High School n'abawa obukodyo bw'okwetangira omuliro n'okubagumya.

Guno mulundi gwakubiri Muzeyi okugenda ku ssomero lino okuva lwe lyakwata omuliro emirundi ebiri ku Lwokutaano ne ku Ssande wiiki ewedde. Ku Lwokubiri, Muzeyi yagenze ku ssomero lino n'alagira abalikulira okuyita abayizi bonna ayogereko nabo basobole okuvaamu ekiwugwe kye baabadde nakyo oluvannyuma n'abayigiriza engeri gye basobola okweyambisa ebyuma ebizikiza omuliro ne baguzikiza mangu nga tegunnayokya bintu kubimalawo.

Abaserikale ba poliisi baakoleezezza omuliro ne bayita abasomesa okubalaga bwe basobola okuguzikiza n'oluvannyuma abayizi abalondemu baayigiriziddwa engeri gye basobola okuzikizaamu omuliro. Okubuulirira kwa Muzeyi eri abayizi, kwagattiddwa ku kw'abakugu abalala ababadde baleetebwa ku ssomero okubudaabuda abayizi. Ku Ssande omuliro bwe gwazzeemu okukwata ekisulo kya Kivebulaya House.

Akulira essomero lino, Robinah Kizito yafulumya ekiwandiiko n'ategeeza nti, abakugu mu kubudaabuda abayizi baabadde baaleeteddwa okuyambako abayizi okuvaamu ekiwugwe.

Yagasseeko nti, poliisi yabadde yeddizza ebyokwerinda kw'essomero era buli muntu yabadde alina obukuumi obumala ku ssomero n'okutangira omuliro okuddamu okukwata ekifo ekirala kyonna.

Omuliro gwasooka kukwata kisulo kya Corby House omwabadde musula abayizi ba S.3 ne S.4 ku Lwokutaano ne gusaanyawo ekisulo kyonna. Kigambibwa nti, omuliro guno gwavudde ku masannyalaze.

Ku Ssande, omuliro gwazzeemu ne gukwata ekisulo kya Kivebulaya House ne gwokya ebintu ebitonotono ne baguzikiza mangu kyokka guno poliisi eteebereza nti, gwakumiddwa bukumibwa era abamu ku baana balumiriza nti, waliwo omusajja gwe baalabye afuluma ekisulo kino.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti, Muzeyi ku ssomero yagenzeeyo okwogeramu n'abayizi gattako okubagumya. Omuduumizi wa poliisi y'e Kasangati, Edison Muhangi yagambye Bukedde nti, Muzeyi n'abakungu ba poliisi okuli Grace Akulo dayirekita w'ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Moses Kafeero aduumira poliisi mu Kampala n'emiriraano, Asuman Mugenyi dayirekita w'ebikwekweto n'abalala baagenze ku ssomero lino era baabawabudde ku ngeri gye balina okugabanyamu abaserikale okukuuma essomero lino.

Yayongeddeko nti, abaserikale okuva mu kitongole ekikessi, ekitongole ekizikiriza omuliro, ekitongole ekirwanyisa abatujju, abaserikale abakakkanya obujagalalo, abaserikale ba poliisi y'ebidduka, miritale n'ebitongole by'ebyokwerinda byonna mu ggwanga baayiiriddwa okukuuma essomero lino n'okunoonyereza ekyavuddeko omuliro basobole okukola lipooti ejjudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...