TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda balabuddwa ku bufere obuli mu kutwala abantu e bweru

Bannayuganda balabuddwa ku bufere obuli mu kutwala abantu e bweru

Added 12th March 2020

Bannayuganda balabuddwa ku bufere obuli mu kutwala abantu e bweru

Revecca Kadaga wakati, Kassimu Ssali ku ddyo ne Harimah Namakula ku kkono

Revecca Kadaga wakati, Kassimu Ssali ku ddyo ne Harimah Namakula ku kkono

KASSIM Ssali ategeka Ugada kwekwaffe mu Edmonton Canada alabudde Bannayuganda okwewala abafere kubanga waliwo abeerimbika mu linnya ly'ekibiina ky'akulembera ne baggya ku bantu sente.

Ssali ategeezezza Bukedde nti omwezi ogujja April olukung'aana Bannayuganda lwe beeyunira luli mu kibuga Edmonton e Canada olugenda okwetabibwamu Sipiika Rebecca Kadaga ne sipiika wa palamenti ya East Africa Martin Ngoga.

Ssali bino abitegeezezza Bukedde oluvannyuma lw'okusisinkana Francis Peter Ojede akulira The Uganda National Cultural Centre (UNCC) ku National Theatre mu Kampala.

Mu nsisikano eno mwe bakkaanyirizza nti Ojede ng'agenze mu lukungaana mu kibuga Edmonton Canada gye bagenda okuteekera omukono ku ndagaano okutumbula eby'obuwangwa bya Bannayuganda ebweru.

eter jede ku kkono ne assim sali ku ddyoPeter Ojede ku kkono ne Kassim Ssali ku ddyo

 

Ekiseera kino Ssali Ssali akulira Uganda Culture in Diaspora era sentebe w'olukiiko olutegeka olukung'aana lwa Uganda Kwekwaffe ali mu kibuga Edimonton wabula ayongedde okulabula Bannayuganda okwerinda abafere.

Ng'oggyeko abakulembeze bebyobufuzi ku mitendera egy'enjawulo ng'Ababaka ba palamenti abagenda okwetaba mu lukung'aana luno, n'abakola eby'obulimi baakulufunamu.

Bagenda babangula abantu okuva e Uganda ku nnima ey'omulembe n'okukozesa tekinologiya ow'omulembe n'okubakwataganya n'Abazungu abasobola okubagulako bye balima.

Abayimbi abasuubirwa mu lukung'aana luno olugenda okubeerawo omwezi ogujja kwekuli Harunah Mubiru Kitooke ne Halimaha Namakula ng'omulamwa bagutadde ku kutumbula buwangwa.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...