TOP

Minisita ayimirizza mutabani wa Kirumira

Added 13th March 2020

Minisita ayimirizza mutabani wa Kirumira

 Minisita Amonmgi

Minisita Amonmgi

MINISITA wa Kampala Betty Amongi ayimirizza Gerald Kalungi mutabani w'omugagga Godfrey Kirumira okuzimba n'okukolera mu kaguudo akagatta ebizimbe eby'enjawulo ku Wilson Road w'akubye ebbaati.

Akulira okutegekera ekibuga Moses Atwine yabadde awadde Kalungi olukusa okuzimba mu luguudo luno nti, alulinako ekyapa kyokka abakulembeze mu kitundu okuli; bakkansala, LC, abasuubuzi ne bannannyini bizimbe abalala ne baddukira ewa Amongi.

Amongi ng'ayita mu tteeka nnamba 79 (2) erifuga Kampala, limuwa obuyinza okusazaamu ekintu kyonna ekiba kikoleddwa nga kinyigiriza abalala. Mu bbaluwa gye yawandiikidde Kalungi yawaddeko omuduumizi wa poliisi ya Kampala Metropolitan okutuuka LC1 etwala ekyalo kya William Street.

AMONGI YAWADDE EBIRAGIRO BISATU1

Olukusa olwaweereddwa akulira okutegekera ekibuga Moses Atwine lugenda kukosa abantu abalala.2 Okuyimiriza okuzimba n'enteekateeka zonna okukolerea mu kifo kino.3 Omubaka wa Pulezidenti ne poliisi okukakasa nti ekifo kibeeremu emirembe.

Omuyambi wa minisita mu byobufuzi Edward Ssekabanja yategeezezza nti, minisita yabasindise mu kifo ekyo okukakasa okwemulugunya kw'abasuubuzi ne basanga nti, oluguudo luzibiddwa ng'ekitundu kikubiddwaako ebbaati.

Yagambye nti oluguudo olwo lugatta ebizimbe ebirala okuli n'amaduuka. Aba LC baasanyukidde ekiragiro kino ne bategeeza nti, baagala poliisi ebayambeko okukissa mu nkoa. Kalungi yategeezezza nti eryo ttaka lye alirinako n'ekyapa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...