TOP

Aba Poliisi bakwatiddwa lwa kufera obukadde 250

Added 13th March 2020

Aba Poliisi bakwatiddwa lwa kufera obukadde 250

 KImbowa ne ASP Nkonge

KImbowa ne ASP Nkonge

OFIISA wa poliisi mayinja asatu ne banne abalala babiri, babadde bamaze emyezi mukaaga nga baluka olukwe lw'okunyaga omugagga w'omu Kampala. Ku Mmande ya wiiki eno, ddiiru yakutuse wabula tebaategedde nti bagwa mu katego k'amagye.

ASP Simon Peter Nkonge, SPC Martin Kimbowa ne Allan Ssendegeya baakwatiddwa ku bigambibwa nti, baabadde baagala kunyaga Vincent Ruyinda nnannyini kizimbe kya Kooki Towers ekiri mu maaso ga CPS mu Kampala.

Ekizimbe kino kye kimu ku bisinga okulabika obulungi mu Kampala nga kyazimbibwa kumpi ddala n'ekitebe kya poliisi mu Kampala ekya CPS. Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles MansioTwine yagambye nti, Nkonge akolera ekitongole kya poliisi ekikola ku bya tekinologiya (ICT) wansi wa ofiisi eyitibwa ECM.

Yagasseeko nti, Kimbowa yali akolera Flying Squad kyokka endagaano ye yaggwaako era kati muntu waabulijjo ne Ssendegeya naye yagambye muntu waabulijjo. Kigambibwa nti, Nkonge ne banne, baatandika okuluka misoni y'okufuna ddoola 60,000 (mu za Uganda obukadde obukunukkiriza mu 250) okuva ku Ruyinda mu September w'omwaka oguwedde oluvannyuma lw'omu ku bantu ababadde bawa Nkonge amawulire okumutegeeza nti, Ruyinda mu 2014 bwe yali azimba ekimu ku bizimbe bye ku Buganda Road mu Kampala, yasaddaaka omuntu n'amuziika.

 BAASOOKA KUSABA OBUKADDE 70

Omu ku baserikale abaategedde ku kukwatibwa kwa Nkonge ne banne yagambye nti, Nkonge yeesitula n'atuukirira Ruyinda n'amugamba nti, waliwo omusango gwe bali mu kunoonyerezaako ogw'okutta omuntu wabula bw'aba abawadde emitwalo ebiri egya ddoola, basobola okuguvaako.

Ensonda zaategeezezza nti, Nkonge yagenda ewa Ruyinda n'akatabo mwe yali awandiise bwino we yenna era Ruyinda n'amugamba nti, bagenda kulaba bwe bakwatagana ensonga bazimalirize. Kigambibwa nti, obudde bwe bwatambula nga Ruyinda teyeenyeenya, Nkonge ne banne baalinnyisa ssente ne zituuka ku mitwalo mukaaga egya ddoola era okubakwata ze baabadde bakimye.

ENGERI GYE BAAKWATIDDWA

Twine yagambye nti, baakolaganye n'ekitongole ky'amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) ne babakwata. Ruyinda, yakubidde Nkonge essimu n'amutegeeza nti, ssente zaabwe yabadde azifunye n'abalagirira mu kifo ekimu e Nsangi gye baba bamusanga azibawe. Bano olwatuuse, Ruyinda yabaggyiddeyo ssente n'azibawa olwo bambega ba CMI abaabadde bagudde kkava ne babakwata lubona ‘n'omunyago' gwabwe.

Twine yagasseeko nti, bazze balwanyisa abamenyi b'amateeka mu kitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango era ku nkomerero y'omwaka oguwedde, abaserikale abawerako baakwatibwa n'abalala ne bagobwa mu kitongole kino. Nkonge, ye muserikale owookubiri ali ku ddaala lya ASP okukwatibwa mu bumenyi bw'amateeka omwaka guno.

Eyasoose okukwatibwa ye Careb Tashobya eyabadde akolera ku poliisi y'e Ntebe gwe baakutte ku bigambibwa nti yabadde asabye omusibe obukadde butaano okumuwa akakalu ka poliisi.

Omwaka oguwedde, omuserikale omulala, ASP Bright Amutuhire eyali akulira ebikwekweto ku poliisi e Kajjansi yakwatibwa n'owa UPDF Richard Musinguzi nga kigambibwa nti yateega omusuubuzi w'ebyen-nyanja Tom Kisubika mu July wa 2019 ku Bayita Ababiri. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, Nkonge ne banne, bagguddwaako omusango gw'okutiisatiisa omuntu ku ffayiro SD75/09/03/2020.

NZE SINNASABA MUNTU YENNA SSENTE - NKONGE

Nkonge agambibwa okukulembera akabinja yagambye nti, kituufu baakwatiddwa era bakuumirwa ku poliisi e Kabalagala kyokka talina muntu yenna gwe yasabye ku ssente. "Tewali kya kukola naye byonna bya kupanga kubanga tewali bujulizi bwonna nti nze nasabye ssente," Nkonge bwe yategeezezza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agafa ku bidduka: Laba omug...

Emmotoka ezifiira ku nguudo zeeyongedde obungi nga kigambibwa nti ekizibu kivudde ku bbanga eddene lye zaamala...

Kasuie ng’assa omukono ku ndagaano.

Musaayimuto wa SLAU yeesung...

KAPITEENI wa St. Lawrence University (SLAU) mu Pepsi University League, Ibrahim Kasule amanyiddwa nga ‘Owen Baba...

Kyambadde ng’asiba omupiira. Ku ddyo bw’afaanana kati.

Eyali ssita wa KCC ne Crane...

BULI lw’okoona ku linnya lya Ibrahim Sekaggya, Abubaker Tabula, Wilber Musika n’abalala, Willy Kyambadde ayunguka...

Ssenninde

Ssita wa Crested Cranes yee...

OMUZIBIZI wa ‘Crested Crane’ ttiimu y’eggwanga ey’omupiira mu bakazi Jean Namayega Sseninde ayabulidde Queens Park...

Omugenzi Waiswa. Ku ddyo ye Nnaalongo

Poliisi eggalidde Nnaalongo...

SSAALONGO ow’abakyala omunaana, puleesa zimukubye n’afiirawo nga poliisi eggalidde omu ku bakyala be mu kaduukulu....