TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba poliisi abagambibwa okufera obukadde 250 omu abadde yakayimblwa ku by'okutta Kaweesi

Aba poliisi abagambibwa okufera obukadde 250 omu abadde yakayimblwa ku by'okutta Kaweesi

Added 13th March 2020

Aba poliisi abagambibwa okufera obukadde 250 omu abadde yakayimblwa ku by'okutta Kaweesi

 Kimbowa gwe baayimbula ku bya Kaweesi.

Kimbowa gwe baayimbula ku bya Kaweesi.

Martin Kimbowa, y'omu ku baakwatibwa ekitongole kya CMI ne ISO ku by'okutemulwa kw'eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Andrew Felix Kaweesi nga March 17, 2017. Ono baali bamulumiriza nti y'omu ku baavuga ppikippiki ezaatambuza abatemu ab'emmundu nga bagenda e Kulambiro mu munisipaali y'e Nakawa gye battira Kaweesi.

Oluvannyuma lw'okusibwa omwaka mulamba n'ekitundu mu kkomera ly'amagye e Makindye, Kimbowa n'abalala okuli Moses Kasiba baayimbuddwa nga kati abadde alya butaala. Ebiseera ebisinga, abadde atera kubeera ku CPS mu Kampala ne ku kitebe kya poliisi e Kibuli.

Twine yagambye nti, Kimbowa bwe yakwatibwa, endagaano ye gye yalina ne poliisi yaggwaako era tezzibwanga buggya. "SPC akolera ku ndagaano bw'eba eweddeko, awo afuuka muntu waabulijjo okuggyako nga bamwongedde endagaano endala." Twine bwe yategeezezza.

Ate Nkonge yasooka kukolera kitongole kya Flying Squad ng'akulira ebikwekweto kyokka n'afuna obutakkaanya n'eyali mukama we, Herbert Muhangi n'amuggalira oluvannyuma lw'okuyimbulwa. Nkonge yava mu Flying Squad n'addayo ku kitebe kya poliisi e Kibuli gye yava okwegatta ku kitongole kya ICT

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...