TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi w'ettaka eyattiddwa akwasizza banne babiri

Omusuubuzi w'ettaka eyattiddwa akwasizza banne babiri

Added 13th March 2020

Omusuubuzi w’ettaka eyattiddwa akwasizza banne babiri

POLIISI y'e Busunju mu Mityana ekutte abasuubuzi b'ettaka babiri bagiyambeko mu kunoonyereza okuzuula ekyavuddeko munnaabwe okuttibwa mu ntiisa. Deo Gumira yattiddwa ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde e Namigavu mu disitulikiti y'e Mityana oluvannyuma omulambo ne bagusula mu nsiko.

Abaakwatiddwa ye; Richard Bisaso ne Ewuzeni Mugalula ab'e Kyanuuna mu ggombolola y'e Namayumba e Wakiso nga nabo bakola mulimu gwa kusuubula n'okutunda ettaka nga mu kiseera kino bakuumirwa ku poliisi y'e Busunju.

Kigambibwa nti ku Lwokusatu bambega ba poliisi okuva e Busunju baagenze e Kyanuuna ne basooka okuggya siteetimenti ku mukyala w'omugenzi nnannyonnyola ebyaliwo nga bba tannaba kuttibwa era oluvannyuma bambega baagenze ewa Mugalula ne Bisaso ne babakwata.

Ensonda ku poliisi y'e Busunju zaategeezezza nti okukwata Mugalula ne Bisaso kyaddiridde poliisi okukola okunoonyereza ne bakizuula nga bano omugenzi be yasemba okwogera nabo ku ssimu ate nga ne kundagaano y'ettaka lye yali yaakagula gye baamusanga nayo be baali abajulizi abaateekako omukono.

Ensonda era zaategeezezza nti olwatuusiddwa ku poliisi baabaggyeeko siteetimenti, kyokka Mugalula yategeezezza nga bw'atabeerangako na mugenzi ku lunaku lwe yattibwa n'agamba nti yali mu bizinensi ze.

Atwala poliisi y'e Busunju, Beatrice Kyoshabire yagambye nti abaakwatiddwa bagenda kuyamba ku poliisi mu kunoonyereza n'okuzuula abantu abalala abali emabega w'ettemu lino.

OMUGENZI BAAMUZIISE KIRO

Ku Lwokusatu ku makya, abooluganda lwa Gumira n'abakulembeze b'e Kyanuuna baakedde kugenda Mityana okuzuula awaali omulambo gwa munnaabwe.

Baasoose ku poliisi e Busunju ng'eno yabasindise e Mityana mu ggwanika ly'eddwaaliro gye baabategeerezza nti omulambo gwa Gumira gwaziikibwa mu limbo ya munisipaali. Baasobodde kuguggyayo ne bagutwala mu maka ge e Kyanuuna nga gwatusiddwaayo ku ssaawa 12:00 ez'olweggulo.

Abooluganda baasazeewo omulambo guziikibwe kuba gwabadde guwunya nnyo ate nga guzimbye era ne bakkaanya gutwalibwe e Kyampologoma mu ggombolola y'e Namayumba e Wakiso ne guziikibwa. Okuziika kwabaddewo ku ssaawa 5:00 ez'ekiro ky'Olwokusatu. Ssentebe Tadeo Yiga yagambye nti omulambo baagusazeeko ebiwundu ng'ekibatu ekimu tekiriiko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...