TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Biibino by'obadde tomanyi ku mmotoka Bugingo gye yatonedde Suzan Makula

Biibino by'obadde tomanyi ku mmotoka Bugingo gye yatonedde Suzan Makula

Added 13th March 2020

Biibino by'obadde tomanyi ku mmotoka Bugingo gye yatonedde Suzan Makula

 Emmotoka egambibwa okugulirwa Makula.

Emmotoka egambibwa okugulirwa Makula.

KAPYATA y'emmotoka Range Rover Sport ecamudde abantu abalowooza nti Paasita Aloysious Bugingo yagigulidde mukazi we omupya, Susan Nantaba Makula.

Ekyaleetedde abantu okulowooza batyo kyavudde ku Bugingo ne Makula okubeera nga mu kiseera emmotoka eno we yafulumidde nga bombi bali South Afrika ate nga n'emmotoka ekutte akati ku mikutu egy'enjawulo ku yintaneeti eri mu maduuka agatunda mmotoka mu ggwanga lye limu.

Mmotoka eno yasibiddwaako obuwero obumyufu obulaga laavu olwo abaagaliza Makula ebirungi ne bakikoonamu wadde nga tebalina bukakafu ku kyo. Wadde nga waliwo mmotoka Susan gye yabaddemu e South Afrika nga ya mitto myeru ate ng'eyogerwako ya middugavu, tekyalobedde bantu kulowooza nti mmotoka y'emu ne Susan gye yabadde atuddemu kyokka ng'olabira ddala nga za njawulo.

Ekyabongedde essuubi kwe kulaba emmotoka eno ng'abaddukanya omukutu gwa Salt Media ogwa Bugingo bagitadde ku page eyo ne bawandiikako nti, ‘mwogere neera.' Ab'e South Afrika nabo boogera byabwe ku mmotoka eno anti abamu baasoose kutegeeza nga bw'eri ey'abayimbi b'ennyimba z'eddiini aba New Chapters.

Bano nabo baabaddeko ne Bugingo e South Afrika ekyatabudde abalala nga balowooza nti oba Bugingo ye yagibagulidde okubeebaza okutambuza enjiri nga bayita mu nnyimba. Bukedde yatuukiridde omu ku bayimbi ba New Chapter, Edwin Lutaaya ali e South Afrika n'ategeeza nti emmotoka Susan gye yabaddemu ya kika kya Bently ate eyogerwako ya Range Rover.

Yagasseeko nti bo ng'aba New Chapter baludde nga bakolagana ne Bugingo, era bwe yagenzeeyo okubakyalira baabadde bonna n'emmotoka eyogerwako abantu kwe kulowooza nti Bugingo yagigulidde Makula, ekitali kituufu kubanga mmotoka yaabwe. New Chapter erimu abayimbi basatu okuli Edwin, Antonia ne Jomo.

Ebikwata ku mmotoka eNO lRange Rover Sport ekolebwa e South Afrika okusinziira ku mukugu w'emmotoka, Barnabas Kigongo azitundira mu kibanda kya mmotoka ekya Kampala Modernity e Bugoloobi.

Yagambye nti bwe yagirabye mu kifaananyi eyo modo ya 2014 egula obukadde 250, modo 2018 egula 350 ate Range Rover Sport Auto Biography modo 2019 eri ku 450. Esobola okukulabula ng'egenda kutomera n'eyogera ennimi ez'enjawulo okusinziira olulimi lwe wagiragira eyogere oba Luzungu, Lujapan n'endala.

Abagirinnya bwe baba bakulu mu myaka, ekka wansi ne bagituuka. Bwe yeewulira ng'eri ku misinde mingi, ekkamu wansi okwongera okuggumira ate bw'ebeera mu binnya ebipima n'esalawo oba ewanvuwamu obutakubwa nnyo oba okukkamu okunywerera ku ttaka. Kino ekikola kusinziira ku kika ky'ekkubo ly'eriko. Erina kkamera eziraga ebiri ewala ekiro amataala gye gatatuuka.

Bugingo yayawukana ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo bwe baali bamaze emyaka 29 n'agenda ne Makula gwe yazimbira amaka amatiribona e Wakiso. Naluswa yasalawo okutwala Bugingo mu kkooti ng'amulanga obutalabirira waka, wabula eno Bugingo yamumeggerayo.

Bugingo yeekubira enduulu mu kkooti bagattululwe ne Naluswa wabula omusango tegunnasalwa. Gye buvuddeko Naluswa yaggulawo ekkanisa ku Bat Valley n'atandika okubuulira enjiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...