TOP

Enkuba egoyezza ab'e Kayunga

Added 13th March 2020

Enkuba egoyezza amayumba n'ebintu e Kayunga n'ebaleka nga beeyaguza luggyo

 Emu ku nnyumba ezaagoyeddwa kibuyaga e Kayunga

Emu ku nnyumba ezaagoyeddwa kibuyaga e Kayunga

Bya Saul Wokulira          

Enkuba ebaddemu omuzira ne kibuyaga eyonoonye ebintu by'abatuuze e Kayunga okuli ebirime n'okusuula amayumba.

 nju yomutuuze omulala eyatikkuseeko akasolya Enju y'omutuuze omulala eyatikkuseeko akasolya

 

Enkuba eno esinze kukosa ebyalo bitaano okuli; Kyanya, Kiryammuli, Kisombwa ne Wanyanga mu ggombolola y'e Kayunga mu disitulikiti y'e Kayunga.

Abatuuze basobeddwa eka ne mu kibira kubanga amayumba gaagudde ku ttaka n'amalala ne gatikkukako obusolya.

Omuzira ne kibuyaga byonoonye ebintu by'omu nju olwa mukoka n'emisiri gy'emmere agigoyezza.

Ssentebe w'eggombolola y'e Kayunga, Christopher Muganga agambye nti, abatu

 batuuze nga basobeddwa oluvannyuma lwenju zaabwe okugwa Abatuuze nga basobeddwa oluvannyuma lw'enju zaabwe okugwa

 

uze beeraliikirivu nti, enjala kakutiya eboolekedde n'obwavu kubanga ebintu bingi ebyonooneddwa.

Muganga awanjagidde abazirakisa ne minisitule ey'ebigwabitalaze okudduukirira abantu b'e Kayunga abafiiriddwa ebyabwe ng'ebawa obuyambi bw'ebikozesebwa n'obw'emmere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.