TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddagala lya Siriimu lyandiba nga lifunyise: Omuntu owookubiri abadde amulina awonye

Eddagala lya Siriimu lyandiba nga lifunyise: Omuntu owookubiri abadde amulina awonye

Added 14th March 2020

OMUSAJJA ow’emyaka 40 e Bungereza abadde omulwadde wa siriimu asambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw’abasawo okumujjanjaba mu ngeri ey’ekikugu ennyo n’awona obulwadde buno! Ono ye muntu owookubiri eyaakajjanjabwa n’awona akawuka ka siriimu!

Amakerenda g'eddagala lya Siriimu

Amakerenda g'eddagala lya Siriimu

Kyokka abakugu balabudde nti kino tekisaanye kweyibaaza bantu kudda mu bwenzi kuba eyawonye teyawonedde ku makerenda gaweweeza kawuka ka siriimu agaliwo kati.

Baakozesezza enkola ey'ekikugu ey'okufuna obutoffaali bw'omubiri obwamuweereddwa abazirakisa abalina ‘omusaayi ogulina amaanyi agalwanyisa endwadde era si nnyangu kukolebwa ku buli muntu ate ng'eyinza n'okumuviirako okufa nga bamujjanjaba.

Adam Castillejo, 40, ye yakoze emitwe gy'amawulire ku mikutu egy'ensi okuli ogwa BBC, CNN n'empapula z'amawulire e Bungereza ne Amerika abasawo bwe baakakasizza nti yawonye akawuka.

Yakeberwa ng'alina akawuka ka siriimu mu 2003 era n'atandika okuweebwa eddagala eriweweeza obulwadde okutuusa mu 2012.

Mu mwaka oguwedde embeera yasajjuka bwe yafuna obulwadde bwa kookolo abakugu basalawo okumuggyamu obusomyo bw'omu magumba obwa kookolo nabwo obwali bumusumbuwa ne bamussaamu obulala obwamuweebwa abazirakisa.

Abazirakisa bano baalina obutoffaali bw'omubiri obutakwatibwa siriimu era olwabumussaamu naye n'awona.

Omulwadde ono eyakaziddwaako ‘'London patient'' eyava mu ggwanga lya Venezuela, abasawo balangiridde nti takyalina siriimu bwe bamukebedde ne batamuzuulamu kawuka emyezi 30 bukya akoma kumira ddagala.

Abanoonyereza ku yunivasite ya Cambridge mu Bungereza babadde bamukebera okumala emyezi 18 ne batamuzuulamu kawuka ka siriimu ng'okunoonyereza n'okujjanjaba kuno kwakuliddwa Prof. Rayindra Gupta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....