
Maj. Gen. Kasirye Ggwanga
Kasirye Ggwanga eyayogedde ne Bukedde ku ssimu yagambye nti, eyawadde ekiragiro okukwata Tumukunde yakoze ensobi nnene nnyo era alina okukimanya nti, ajja kukwata bagenero abalala bangi kubanga balina eddembe okwogera ku nsonga ezibaluma. Naddala abaawummula amagye.
Kyokka n'ajjukiza Tumukunde nti yakozeemu ensobi okwogera ku nsonga za Rwanda ne Kagame kubanga "nange ebya Rwanda mbimanyiiko kinene naye sisobola kumala gabyogerako".
Ebimu ku bintu Museveni by'atagumiikiriza kwe kulumba ffamire ye, okweyingiza mu nsonga z'amagye. Olwo oba okoze Museveni olumu kye yayita okuweweeta engo w'efulumira obubi "touching a leopard's anus".
Tumukunde yalangiridde okuvuganya ku Bwapulezidenti mu kulonda okujja era n'akunga abantu okuvaayo n'amaanyi gonna okulwanyisa Museveni nga bayita mu kalulu.
Kigambibwa nti yawagidde Rwanda okuggalawo ensalo zaayo ne Uganda bwe kiba nga Rwanda erina obujulizi obuluma Uganda okuwagira abayeekera Gavumenti ya Kagame.
Kasirye Ggwanga yagambye nti eyo yabadde nsobi nnene ku ludda lwa Tumukunde. Okwo yagasseeko ensobi endala okuyingira ebyobufuzi ku ddaala ly'okuvuganya Pulezidenti n'agamba nti, abajaasi tebeetaba mu byabufuzi ne bwe baba bawumudde amagye wadde nga nabo balina eddembe lyabwe ng'abantu abalala.
Tumukunde yakwatiddwa ku Lwokuna ekiro n'aggulwako emisango gw'okulya mu nsi olukwe.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Tumukunde yasinziira ku leediyo ne ttivvi n'asekeeterera Gavumenti ekintu ekiyinza okuvaako obutabanguko mu ggwanga n'okutta abantu.
Tumukunde era baamuvunaanye n'emisango gy'okutambuza ssente mu bumenyi bw'amateeka oluvannyuma lw'ekitongole ekirondoola entambuza ya ssente ekya Financial Intelligence Authority (FIA) okukizuula nti, waliwo ssente ezaayitira ku akawunti ye nga ziva e Rwanda.
Abeebyokwerinda bagamba nti, Tumukunde abadde alina enkolagana ne Rwanda era bwe yali ku pulogulaamu ya Capital Gang ebeera wiiki ewedde, yalaga nt, awagira Rwanda okuggala ensalo zaayo bw'eba erumiriza nti Uganda etendeka abagiyeekera.
Mu kiwandiiko Enanga kye yafulumizza, yagambye nti, Tumukunde ng'ali ku leediyo yasaba eggwanga ery'omuliraano okumuyambako okuggyako Gavumenti mu ngeri yonna ng'ayita mu kalulu oba okukozesa ekifuba.
Kino Enanga yayongedde okukirambulula ng'ayogera ne bannamawulire ku Lwokutaano nti, kubeera kukunga bantu kulumba Uganda ekimenya konsitityusoni era ogwo musango gwa nnaggomola.
Tumukunde ne Kagame bombi baali bambega ab'amaanyi mu ggye lya NRA eryawamba obuyinza mu 1986. Waliwo ne boofiisa ba NRA (UPDF) abalala abaagenda ne Kagame e Rwanda abagambibwa nti, baasigaza enkolagana ey'amaanyi ne boofiisa ba UPDF.
Kigambibwa nti bano bawuliziganya era bwe wabaawo ensonga enkulu ng'obutakkaanya wakati wa Museveni ne Kagame oba Uganda ne Rwanda okutwalira awamu bawuliziganya ne babaako n'engeri gye bawabulahhana.
Abeebyokwerinda babuuliriza ku Tumukunde okumanya enkolagana ye n'ab'e Rwanda w'ekoma n'engeri gy'eyinza okutabangulamu eggwanga.