TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa LDU abadde agobagana n'abakuba amatatu akubye amasasi ne gakwata ttuleera y'amafuta n'ebengeya

Owa LDU abadde agobagana n'abakuba amatatu akubye amasasi ne gakwata ttuleera y'amafuta n'ebengeya

Added 18th March 2020

OMUSERIKALE wa LDU abadde agoba abakuba matatu akubye amasasi agakutte ttuleera y’amafuta n’ebengeya.

 Abantu nga batuluulidde ttuleera eyakutte omuliro n'ebengeya. Ebifaananyi bya

Abantu nga batuluulidde ttuleera eyakutte omuliro n'ebengeya. Ebifaananyi bya

Omuliro gwasaasaanidde emmotoka endala eya buyonjo ekika kya Toyota Corona (Kiswa) nnamba UAH 515D, ppikippiki n'edduuka.

Omuserikale wa LDU okukuba ttuleera nnamba KBY 467W amasasi yabadde agoba bavubuka be baasanze bazannya matatu ku luguudo ku ssaawa 5:30 ez'ekiro ekyakeesezza Olwokubiri.

Omu ku batuuze eyabaddewo yategeezezza nti ttuleera yabadde wabbali w'oluguudo mu kitundu ky'e Namwezi mu Mbikko, Njeru divizion mu disitulikiti y'e Buikwe.

Yagambye nti yawulidde amasasi agakuba era bwe yavuddeyo n'alaba aba LDU nga baliko abavubuka be bagobaganya wabula ate waayiseewo akaseera katono ttuleera n'ekwata omuliro.

Abaabadde mu mayumba agaliraanye baagafulumye abamu nga bali bwereere okutaasa obulamu bwabwe.

Ekimotoka ekizikiza omuliro okuva ku Nytil kyazze ne kigezaako okuguzikiza. Kyegattiddwaako ekirala okuva mu Poliisi y'e Jinja ne basobola okuguzikiza.

Hellen Butoto omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, yategeezezza nti Poliisi eteebereza nti omuliro gwavudde ku ssasi oba waliwo omuntu ow'ettima eyagikumyeeko omuliro.

alt=''

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...