TOP

Olw'e Canada balusazizzaamu

Added 19th March 2020

BANNAYUGANDA ababadde beesunga olugendo lw’e Canada okwetaba mu lukung’aana lwa Uganda Kwekwaffe ekirwadde kya ssennyiga omukambwe kirinnye eggere mu ssanyu lyabwe.

 Kassim Ssali pulezidenti wa Uganda Culture in Diaspora era sentebe w’olukiiko olutegeka olukung’aana lwa Uganda Kwekwaffe

Kassim Ssali pulezidenti wa Uganda Culture in Diaspora era sentebe w’olukiiko olutegeka olukung’aana lwa Uganda Kwekwaffe

Kino kivudde ku mbeera eriwo nti Canada yasazizzaamu Visa z'abagwira okutuusa nga May 15, 2020.

Wano Kassim Ssali pulezidenti wa Uganda Culture in Diaspora era sentebe w'olukiiko olutegeka olukung'aana lwa Uganda Kwekwaffe ategeezezza nti olukung'aana lwa April balusazizzaamu ne baluzza mu August nga bwe balinda embeera okutereera.

Uganda Kwekwaffe balugasse n'ebikujjuko bya Uganda Culture in Diaspora ebirina okubeerawo ku ntandikwa ya August.

Ssali yagambye nti newankubadde waliwo okutataaganyizibwa kuno, naye abaali basasudde era sente zabwe zisigala zikola nga bwe bawandiika abapya okutandika ne April.

"Enjawulo egenda okubeerawo kwekubeera nti olukung'aana olusaziddwamu lubadde lwa nnaku bbiri kyokka lwe bagenda okubeeramu nga Katonda akkirizza lujja kubeera lwa nnaku ttaano" Ssali bw'aggumiza.

 

Kino wekijjidde nga kikwatagana n'ebiragiro ebiweebwa okwetoloola ensi yonna, abamu ababadde basuubirwa mu Lukung'aana luno ye Sipiika Rebecca Kadaga kyokka yawadde ebiragiro nga tewali mubaka ateekwa kutambula kusukka nsalo ya Uganda.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogera eri eggwanga yalagidde Bannayuganda okwewala okutambula okugenda mu mawanga agakoseddwa wadde okulinnya ennyonyi eyitirayo.

Canada yeemu ku mawanga agasooka okukosebwa ekirwadde kya Coronavirus era Sophie Grégoire Trudeau mukyala wa Katikkiro yalangirira nti naye kyali kimukutte.

Abayimbi Bannayuganda abalindiridde okuggulawo kalantiini basobole okwetaba mu lukung'aana luno kuliko: Haruna Mubiru, Stecia Mayanja, Lady Jazmin, Hudson Baliruno,Halima Namakula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...