TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eggalidde abagambibwa okujingirira eddagala eriyiza Coronavirus

Poliisi eggalidde abagambibwa okujingirira eddagala eriyiza Coronavirus

Added 19th March 2020

POLIISI y’e Katwe ezinzeeko amaka mu zooni ya Central mu muluka gwa Katwe II n’ekwata omusajja n’omukazi abagambibwa okujingirira eddagala erinaabibwa mu ngalo okuziyiza okusaasaana kw’akawuka ka Coronavirus.

Abaakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa ku Lwokuna kumakya ye Stephen Night ne mukazi we Aisha Namawejje era bonna baatwaliddwa ku poliisi e Katwe gye bakuumirwa.

Okukwata omwami n'omukyala bano, kyaddiridde poliisi okufuna amawulire ku kkampuni ejingirira eddagala erinaabibwa mu ngalo. Omwami, awaka teyasangiddwawo nga kigambibwa nti, yabadde atutte ddagala lye bakola mu katale kyokka oluvannyuma yakomyewo awaka olwo n'agwa mu mikono gya poliisi.

Stephen ne mukyala we, balina kkampuni eyitibwa Archery Laboratory Supply esuubuza amasomero ebikozesebwa mu labalatole n'ebikozesebwa mu bulwaliro obutonotono era eno, poliisi yategeezezza nti, mpandiise kyokka bagenda kugenda mu kitongole kya URSB ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa amakampuni mu Uganda bafune olukangaga lw'ebintu kkampuni eyawandiisibwa by'erina okukola.

Mu maka ga Stephen wasangiddwayo erimu ku ddagala lye babadde bakola nga liriko obupande bwa Life Care Diagnostics era nga kuliko n'ebiraga nti, liva Nairobi mu Kenya n'eddala eryabadde liteekeddwa mu bucupa nga tekunateekebwako bupande.

Era, baasanzeeyo obucupa obukalu mwe bateeka eddagala lino mu sayizi zonna n'obubapula obuliko amasanda obwabadde tebunateekebwa ku bucupa, ebidomola mwe babadde batambuliza ebimu ku bye babadde bakozesa eddagala lino omuli ne waragi n'ebibookisi mwe babadde batambuliza eriba ligenda ku katale.

Poliisi erina okuteebereza nti, babadde bakola eddagala lino okuva obulwadde bwa Covid-19 lwe bwatandika okusaasaana mu nsi yonna. Eccupa y'edagala lino emu, kati egula wakati wa 35,000/- ne 50,000/- .

Ssentebe w'ekitundu kino, Abdul Kawooya yagambye nti, ebintu omutuuze we byabadde akola abimanyiiko era olumu abadde atera okumuyita n'amusaba okubimutwalira mu ba kaasitoma gyabadde abitunda.

Yagaseeko nti, kyetaaga poliisi n'esooka ekebera eddagala lye yakwatidde ewa Stephen kubanga ye yamutegeeza nti, aliggya Kenya n'aliteeka mu bucupa mu maka ge.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, kituufu Namawejje ne bba baakwatiddwa era bambega baabwe e Katwe baabadde bakyali mu kunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...