TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olutalo lwa Pastor Ssennyonga ne Br Ronnie lusajjuse

Olutalo lwa Pastor Ssennyonga ne Br Ronnie lusajjuse

Added 22nd March 2020

Olutalo lwa Pastor Ssennyonga ne Br Ronnie lusajjuse

 Omusumba Ssenyonga

Omusumba Ssenyonga

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian Life Ministries e Bwaise ayise Bro. Ronnie Makabai emabega n'asisinkana bannannyini ttaka okuli ekkanisa ye eya ETM ku Salama Road alibaguleko. Kigambibwa nti, Ssenyonga yasisinkanye abantu bataano kw'abo omunaana abavunaanyizibwa ku ttaka lino ng'ayagala abasasaule olwo aggyewo ekkanisa ya Bro. Ronnie asseewo eyiye.

Ssenyonga amaze ebbanga ng'ali mu lutalo ne Bro. Ronnie Makabai gw'alumiriza nti, y'omu ku bannabbi ab'obulimba abapanga eby'amagero n'okubuzaabuza abantu. Yadde amaze ebbanga ng'amulumba, Bro. Ronnie abadde tamwanukulanga mu lwatu kyokka bwe kyatuuse ku ky'okugula ettaka okuli ekkanisa ye, Bro. Ronnie yatabuse era ensonga n'azitwala mu kkooti.

Bro. Ronnie agamba nti Sennyonga amaze ebbanga ng'amusosonkereza n'okumuwalampa naye ku luno banaagenda okuva mu kkooti nga Ssenyonga takyalinawo kantu yadde abagoberezi.

Okusinziira ku biwandiiko bya Kkooti Enkulu ekola ku nsonga z'ebyettaka, Bro. Ronnie yataddeyo omusango ku ntandikwa y'omwezi guno nga March 5, 2020. Bro. Ronnie agamba nti Ssenyonga yeekobaanye n'abantu abalala munaana abaamuguza ettaka lino ng'ayagala kulitwala.

Be yawawaabidde ne Sennyonga baana ba mugenzi Muswangali nga baamuguza ettaka lino eriweza yiika bbiri ku luguudo lwa Salaama mu Makindye Ssaabagabo. Abaana b'avunaana kuliko; Nnaalongo Margret Nabweteme, Rose Nambijja, Jane Nanju, Adam Mulwana, Godfrey Mulwana, Samuel Kiku, Francis Bunjo ne George William Nyika nga bonna bazzukulu ba Muswangali eyabeeranga ku lw'e Salama we baakazaako ewa Muswangali.

Bro. Ronnie agamba nti tagenda kukkiriza kuferebwa ttaka lye kw'amaze emyaka 15 be ddu. Omusango guli ku Kkooti Enkulu etuula ku kizimbe kya Twed Towers e Kololo nga guli ku fayiro nnamba 211. Bro. Ronnie y'omu ku basumba abasinga amaanyi n'okukuhhaanya abantu. Y'akulira ekkanisa ya Evangelical Truth Ministries (ETM) ku Salama Road e Makindye.

Ekkanisa ye ezze egejja era emyaka ebiri egiyise yagula ekifo ekirala e Bwerenga ku luguudo lw'e Ntebe n'assaawo ekkanisa endala mu kifo kye yatuuma Holy City. Ku Lwokutaano lwa wiiki eno, omusango guno lwe gwabadde gulina okutandika okuwulirwa kyokka tekyasobose olw'ekiragiro kya Ssaabalamuzi Bart Katureebe okuyimiriza entuula za kkooti mu ggwanga okumala ennaku 32.

Kino kyavudde ku kirwadde kya ssennyiga omukambwe afukamizza ensi yonna mu kiseera kino. Ebiwandiiko bya kkooti biraga nti Ssenyonga ne banne bawolerezebwa munnamateeka, John Matovu owa Matovu & Matovu Co. Advocates ate Osmond Atwine owa Mayende & Co. Associates ye loowa w'ekkanisa ya ETM.

 

Mu mpaaba y'omusango guno, Makabi agamba nti ettaka lino yaligula ku bazukulu ba Muswangali mu 2009 era ne bamukolera n'endagaano. Mu bujulizi bw'alina kuliko endagaano eyakolebwa wakati w'omu ku bawala ba Muswangali ayitibwa Margaret Nabiwata Nakigwe ng'akkiriza nti afunye ssente 22,500,000/- okuva mu kkanisa ETM.

Mu ndagaano eno, Nabiwata akirambika nti ensimbi ezo ze zimu ku ffamire ya Muswangali z'ebanja aba ETM oluvannyuma lw'okubaguza ettaka awali ekkanisa yaabwe. Era Nabiwata ayongera okunnyonyola engeri gye baategeeragana aba ffamire ne baamukkiriza okubanja bbalansi okuva mu ETM n'okukkiriza nti, ddala baatunda ettaka lino.

Balooya ba ETM baategeezezza nti endagaano eno y'emu kw'ezo ennyingi ezaakolebwa wakati w'abaana bano nga batunda ettaka ku poloti ez'enjawulo. "Twagala kkooti ewe ekiragiro ekitangira omuntu yenna okusaalimbira ku ttaka lya ETM kubanga ekkanisa eyo eririko mu butuufu era n'ebiwandiiko byonna weebiri," Atwine bwe yagambye. Yagambye nti bagenda kulindirira olunaku olulala olunaabaweebwa kkooti okutandika okuwulirako ensonga zino.

Ye Matovu akiikiridde oludda lwa Ssenyonga yagambye nti, yeetegese okuwolereza abantu be kubanga nabo kati bafunye obukakafu nti ettaka balirinako obwannannyini era bagenda kulwanirira ekyabwe mu mateeka.

ABAANA BA MUSWANGALI BAAGALA KUTUFERA -

ABA ETM Omu ku bayambi ba Makabai eyasabye obutamwasanguza yategeezezza nti, abaana n'abazzukulu ba Muswangali babasobedde kuba baba baakamala okusasula omu ate ng'omulala avaayo nga naye abategeeza nti muzzukulu wa Muswangali era ayagala kusasulwa mu bwangu. "Twatandika okusasula abantu abo, mu 2009, naye obuzibu buli kiseera ebaayo abavaayo nga beeyita bazukulu ba Muswangali," naye twakitegedde nti waliwo abali emabega abasindika era ono ye Ssenyonga yennyini.

Ayagala kupaaza muwendo gwa ttaka lino amale alibbe naye kkooti y'egenda okutulamula", omu ku baddukanya ekkanisa ya ETM bwe yategeezezza.

SSENNYONGA YATANDIKIRA KU PAASITA SAMUEL KAKANDE Mu October wa 2019, omusumba Ssenyonga yalumba munne Kakande n'agula ekizimbe ekimuliraanye ku kkanisa ya Synagogue Church of all Nations esangibwa ku bbiri e Mulago.

Ku mulundi ogwo, Ssenyonga yategeeza nti, eky'okugula ekizimbe okuliraana ekkanisa ya Kakande yali atuukiriza biri mu bayibuli. Nti bayibuli eragira bannadiini okugenda mu nkambi za sitaani zennyini gye baba basumululira enjiri era naye kye yakola kulumba nkambi ya sitaani (soma Kakande) atandike okubuulira enjiri ebuna wonna.

Yadde bino yabikola, Kakande teyamwanukula mu lwatu era naye yasigala atambuza njiri ye gy'agamba nti ye ntuufu. Ssenyonga azze attunka ne bapaasita banne nga yasooka kutwala Augustine Yiga ‘Mbizzaayo' mu kkooti ng'amuvunaana okumulebula nti yatigiinya akawala akatanneetuka nga bali ku nnyonyi era ne bamugoba mu Amerika. Bino Sennyonga abiwakanya nti kalebule yennyini era yadde Yiga yeepena okugenda mu kkooti okubitebya, ajja kukisasulira kuba omusango teguvunda.

Sennyonga bwe yava ku Yigan'adda ku Aloysious Bugingo owa HPMI e Makerere era ono bakyattuka n'okutuuka kati. Ssenyonga alumiriza Bugingo obwenzi ate Bugingo agamba nti mu basumba b'e Uganda, Ssenyonga abadde akyabasingako obubbi n'obukumpanya.

Ku nkomerero y'omwaka oguwedde, akakiiko akavunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo kaayita abasumba abawalaggana okuli; Bugingo, Ssenyonga, Serwadda, Bro. Ronnie n'abalala ne babalabula okukozesa obubi emikutu gyabwe okuvumagana. Baavaayo beeyamye obutaddamu kunenehhana kyokka ebyo byakoma mu bigambo.

Ku Lwokuna, Ssenyonga yasinzidde mu lukuhhaana lw'amawulire ng'alangirira abagoberezi be engeri gye banaagobereramu okusinza ku mikutu gye oluvannyuma lw'okuwera okukuhhaana olwa ssennyinga omukambwe n'agamba nti, yadde obulwadde bwa Coronavirus bukambwe era bweraliikiriza, Bannayuganda basaanye okweraliikirira ennyo ssennyiga w'abasumba abafere okuli Bro. Ronnie, Bugingo ne Kakande!

Yabakubirizza okukozesa ekiseera kino nga bali bokka okwekuba mu kifuba bakomye ye kye yayise okufera abagoberezi. Ku nkomerero y'omwaka oguwedde Pulezidenti Museveni lwe yamukyalira, yamuloopera abasumba b'agamba nti, babuzaabuza endiga zaabwe, abafera abantu n'okuba n'empuku mwe baziika abantu. Poliisi yamuyita agende akole siteetimenti ku basumba bano naye n'okutuusa kati abadde tannafuna budde bugendayo kugikola nga bwe yasabibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....