TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ennamba y'Abannaddiini abaakafa mu Italy yeraliikiriza

Ennamba y'Abannaddiini abaakafa mu Italy yeraliikiriza

Added 22nd March 2020

Ennamba y'Abannaddiini abaakafa mu Italy yeraliikiriza

MU ggwanga lya Yitale ssennyiga omukambwe owa Covid-19 ayongedde okuwuniikiriza ensi yonna bw'ayongedde okutugumbula abantu okusinziira ku mukutu gw'amawulire ogwa Daily Mail.

Yitale abantu 47,021 be baakakwatibwa obulwadde buno so ng'ate abantu 3,405 be baakafa mu ggwanga eryo. Ekyongedde okutiisa abasawo gwe muwendo gw'abafa okweyongera nga we bwakeeredde ku Lwomukaaga nga ssennyiga asse Abayitale 647 mu lunaku lumu lwokka!

ABASASERDOOTI ABAFUDDE E Yitale, nga y'entabiro y'Obukatoliki bongedde okugwamu entiisa ssennyiga omukambwe bw'asse Abasaserdooti b'Eklezia 18.

Gye buvuddeko katono, Omutukuvu Paapa Francis yawanjagira Abasaserdooti okwewaayo bagendenga basabire abalwadde ba ssennyiga wa Covid-19 olwo nabo olw'okutya olugero olugamba nti agatawulira mukama waago gabikka ntembo, baasitukiramu ng'eyatega ogw'ekyayi okulambula abalwadde n'okubasabira.

Mu mbeera eno, Abasossodooti nabo bazze bakwatibwa obulwadde buno era nga we twogerera 18 ku bo ze mbuyaga ezikaza engoye! Okusinziira ku lupapula lw'amawulire olw'Abakatoliki oluyitibwa ‘Avvenire' olufulumira mu Yitale, Abasaserdooti 10 be bafudde mu Ssaza ly'Eklezia ery'e Bergamo okuliraana ekibuga Milan.

Abalala 5 nabo bafudde mu kibuga ky'e Parma nga n'abala abafudde bava mu bitundu by'e Brescia, Cremona ne Milan mu mambuka ga Yitale. Nga bwe kiri ku basawo abaakafa 13, Abasaserdooti bambala enkampa, obukookolo obubikka ennyindo n'emimwa ne bigaalubindi okweziyiza akawuka ka Coronavirus naye era bubakwata nga kino ky'ongedde obunkenke mu nsi yonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...