TOP

Coronavirus akalubizza Kampala

Added 24th March 2020

PPAAKA za bbaasi mu Kampala zaakwatiridde abantu abangi abaakedde okulinnya okugenda mu byalo okudduka embeera ekalubye mu kibuga olw’ekirwadde kya coronavirus.

 Abantu ng’abanaaba engalo okuyingira akatale ka St. Balikuddembe.

Abantu ng’abanaaba engalo okuyingira akatale ka St. Balikuddembe.

E Kampalamukadde awali ppaaka ya bbaasi za Global Coaches, ennyiriri z'abagula tikiti zaavudde ku ppaaka ne zituukira ddala ku luguudo.

Okulinnya bbaasi kwabadde kwa kaweereege olw'abantu abakulu abaabadde n'abaana baabwe gattako entwala y'ebintu wakati mu ppereketya w'omusana.

Bangi ku baaguze tikiti ku miwendo egyakubisiddwaamu we bwazibidde nga bakyalinze bbaasi okubatwala.

Embeera eyop ye yabadde ku ppaaka ya Link Bus Terminal mu Kisenyi, Kisenyi Bus Terminal ne Namayiba.

Bino bijjidde mu kasattiro akali mu bantu olwa ssennyiga atadde ensi ku bunkenke.

Embeera yayongedde okutabuka bwe kyalangiriddwa ku Lwomukaaga nga Munnayuganda eyavudde e Dubai bwe yakebeddwa ku kisaawe e Ntebe n'asangibwa ng'alina akawuka ka ssenyiga ono.

Wakati mu kutya, Pulezidenti we yayongeredde okulangirira ebiragiro ebipya okwerinda obulwadde buno. Bino mulimu okulabula abantu obutakozesa mmotoka za lukale okuggyako nga tekyewalika.

Abantu okubeera awaka mu nju baleme okutambula ate nga bangi tebakyakola olw'emirimu egiyimiridde okuli ebitongole ebyaggaddewo, ekiragiro ekiggalawo ebbaala, amasomero, amasinzizo n'okuwera enkung'aana.

Mu kusoberwa okwo ate emiwendo gy'ebintu we gipaaluukidde olwo bangi ne basalawo okuva mu kibuga beewogomeko mu kyalo.

Embeera y'entambula yakalubye nnyo n'okusingako bwe kitera okuba mu biseera bya ssekukkulu buli mwaka, abantu bangi bwe bava mu kibuag ne badda mu byalo.

Omusaabaze Rose Natukunda eyasangiddwa ku Ppaaka ya Global, yagambye nti asazeewo okudda eka e Mbarara kubanga mu Kampala apangisa nga kizibu okwekuumira awaka n'abaana ate nga kati takola.

Ate Alex Muhwezi omu ku baddukanya kkampuni ya Global yagambye nti bawaliriziddwa okulinyisa ebisale olw'omuwendo abagenda mu byalo okweyongera ne kibawaliriza n'okwongera ku bbaasi.

Kyokka abava mu byalo okujja e Kampala batono ddala. Ekitegeeza nti ensimbi eziggyibwa ku bagenda mu kyalo ze zisasulira ne bbaasi okukomawo nga nkalu.

MU PPAAKA YA NAMAYIBA

Bukedde yayogedde ne Abudal Kadogo, akulira ebyentambula mu kkampuni ya YY.

Yasangiddwa ng'atereeza abantu mu nnyiriri n'okugumya abaguze tikiti nti bbaasi zaabadde zijja.

Yagambye nti bo aba YY tebongezza bisale bajja kuguma waakiri okufiirwa baleme kunyigiriza bantu abali mu kubonaabona olwa ssennyinga.

Moses Oryema, atunda tikiti ku siteegi ya Kampala-Gulu mu Namayiba yagambye nti abantu abagenda mu byalo bangi kyokka ng'abakomawo batono nga kino kibawaliriza okwongeza ebisale.

LINK BUS TERMINAL

Abakulira ppaaka eno mu KIsenyi bataddewo akuuma akapima ebbugumu. Bakira abasaabaze be beekengera babaziyiza okulinnya bbaasi. Baataddewo obudomola buli musaabaze okusooka okunaaba mu ngalo.

KISENYI BUS TERMINAL

Abantu baabadde bangi oolunng'abeebyobulamu baabadde bamaze okulabula okwewala omugotteko, waakiri buli muntu abeere mita nnamba okuva ku munne.

Wilber Bakaraze omu ku baddukanyiza emirimu mu ppaaka yategeezezza nti eng'endo zonna empanvu ezisinga ebisale byalinye olw'abasaabaze okubeera abangi.

MU PPAAKA ZA TAKISI

Mu ppaaka ya takizi empya n'enkadde, bongedde okunyweza okwerinda kw'abasaabaze. Wassiddwawo ebifo we banaabira engalo ne ssabbuuni.

Ebisale by'entambula awasinga birinyye. Awamu bikubisiddwaamu emirundi ebiri. Bbaasi ezigenda e Hoima zibadde zitwala 20,000/- kati 25,000/- . E Gulu zibadde 25,000/- kati 50,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maj.Bilal Katamba

Bannakampala mukomewo mukol...

AMAGYE gagumizza abantu abakolera mu Kampala nti tewali ajja kutabangula mirembe wadde bizinensi zaabwe noolwekyo...

Maama Kisanja (wakati) ne banne.

Maama Kisanja yawangudde ek...

OKULONDA omukadde agenda okukiikirira abakadde mu lukiiko lw'eggwanga olukulu kuwedde e Luweero era nga Maama Kisanja...

Nancy Kalembe omukazi yekka eyeesimbewo ku bwapulezidenti.

'Sikkaanya na byavudde mu k...

EYABADDE avuganya ku bwa pulezidenti Nancy Linda Kalembe agambye nti si mumativu n'ebyo akakiiko k'ebyokulonda...

Senyomo

Ono akalulu akanoonyeza nju...

Deus Senyomo eyeesimbyewo ku bwannamunigina okuvuganya ku kifo kya kansala mu KCCA ( LC V) mu miruka gya;  Lubaga...

Abamu ku b’eng’anda z’abaafudde nga baaziirana.

Omusajja asse omukazi n'aba...

DOREEN Namutebi 32, afudde alaajana mu muliro ogumusse n'abaana bana e Katooke-Nansana. Moses Ssebadduka nga ye...