
Dr ng'annyonnyola

Abazuuliddwa kuliko abajjiddwa eMateete, Sembabule Town council ,Ntuusi ne Kyeera- Lwemiyaga.Akulira eby'obulamu eSembabule alaze okusoomoozebwa okuliwo ng'abasawo mu malwaliro okuli erya Ntuusi batidde okukwata ku bantu bano ng'abamu badduse ku mirimo n'agamba nti nga Sembabule tebalina bikozesebwa kukola ku balwadde nga tewali na bifo webateekebwa okumala ennaku 14 eza kalantiini ekiyinza okwongera obulwadde.

Bbo abebyokwerinda abeegattiddwako abamagye okuva eKasijjagirwa nga bakulembeddwamu Major Jean Rukiira batandikiddewo ebikwekweto nga eLwemiyaga baggadde ebifo n'amaduuka okutali mazzi ga kunaaba mu ngalo n'abaggudewo amabaala saako abazannya pool nga abawerako bayisiddwaamu ne kibooko.