TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri gye baazingizza omuyimbi Spice Diana ne bamukebera Coronavirus

Engeri gye baazingizza omuyimbi Spice Diana ne bamukebera Coronavirus

Added 25th March 2020

ABASAWO bazingizza omuyimbi Spice Diana abadde yaakava e Tanzania ne bamuggyako omusaayi ne bamukebera ekirwadde kya ssennyiga omukambwe (coronavirus).

 Ekifaananyi Spice Diana kye yeekubisa nga yaakatuuka e Bungereza

Ekifaananyi Spice Diana kye yeekubisa nga yaakatuuka e Bungereza

Spice Diana abadde atambula obutawummula era abadde yaakava e Dubai nga March 8, 2020 gye yabadde n'ekivvulu ne banne okuli mukyala w'omuyimbi Daxx Kartel amanyiddwa nga Momo 19 n'abalala okuli munnamawulire Precious Remmy.

Bano abalala tebanneewaayo mu ba byabulamu okukeberebwa. Okusinzira ku Roger Lubega, maneja wa Spice Diana, abasawo bazze awaka ne bakebera omuyimbi ono wabula tebannazza byavuddemu.

Omucakaze era omwejaasi Judith Heard naye yabadde Tanzania, era ono mu lugendo lwe yabadde n'omuyimbi [Rapper] ow'e Tanzania amanyiddwa nga Mwana FA, ng'amannya ge amatuufu ye Khamis Mwinjuma, eyakebeddwa n'asangibwa n'akawuka ka coronavirus.

Omuyimbi Bebe Cool olwategedde bino yayogedde ne Judith Heard n'amugamba agende bamukebere balabe oba alina ekirwadde kya Corona, Judith Heard okuyita ku mukutu gwe ogwa Twitter yategeezezza nti, "Thanks @BebeCoolUG for reaching out to me, i just got off the phone with MinofHealthUG am about to get tested COVID19UG COVID19outbreak.

Mu ebyo Judith heard yabadde ategeeza nti abadde n'ab'ebyobulamu era ne bakkaanya ku by'okumukebera.

Momo 19 yasabye ebigambo bibeere bitono kubanga yamaze dda okwekebeza ne minisitule y'ebyobulamu era ebizuuliddwa bwe binaakomawo ajja kubiraga abantu bonna.

Bassereebu abalala abaagenda ebweru w'eggwanga kuliko; Ray P, Roger Lubega nga naye yakebeddwa ne Prima Kadarshi mukyala w'omuyimbi Geo Steady.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...