TOP

Omwana avudde mu mbeera n'atta mukulu we

Added 26th March 2020

Omwana avudde mu mbeera n'atta mukulu we

ENSASAGGE egudde e Kawolo mu munisipaali y'e Lugazi, abaana ab'oluganda babiri bwe bafunye obutakkaanya, omuto n'afumita mukulu we ekiso n'afiirawo. Patrick Ssekamwa 19, y'attiddwa muto we (amannya agasirikiddwa) ow'emyaka 14 ng'asoma P7 mu ssomero lya Mt. Zion P/S Kiteza.

Bombi baana ba Specioza Nakate ne Livingstone Kyefuula wabula nga baabadde babeera ne jjajjaabwe Christopher Kato. Entabwe yavudde ku bukota bw'amenvu aga ndiizi, Ssekamwa bwe yatemye wabula muto we ne kimuyisa bubi oluyombo ne lutandika era jjajjaabwe n'aluyingiramu ne baba ng'abakkaanyizza kyokka yalabidde awo ng'omulenzi omukulu agudde nga bw'alaajana.

Jjajjaabwe Kato era azaala kitaabwe yategeezezza nti kyamubuuseeko okulaba omwana ng'ataawa. Bino byabadde ku kyalo Kamenya II mu divizoni y'e Kawolo munisipaali y'e Lugazi mu disitulikiti y'e Buikwe.

Kato yagambye nti omugenziabadde tasoma era abadde aludde ng'abeera naye kyokka omuto abadde yazze kukyala oluvannyuma lw'amasomero okuggalwa olwa ssennyiga omukambwe owa COVID 19.

Jjajjaawe agamba nti omwana omukulu yatemye obukota bwa ndiizi bubiri n'abuleeta munne bwe yamulabye n'amubuuza ekimutemesa ndiizi ko omukulu nti ‘‘njagala kubutunda ne jjajja mmuweeko'' ko omuto nti gano amaka olabika oyagala kugafuula gago. Omukulu kyamunyiizizza era omuto kwe kukwatako akakota akamu n'agamba nti ako naye akatutte omukulu n'akkiriza.

Wabula nti ate omuto yakutte ekiso n'atandika okutemaatema kandiizi ke yabadde awambye bwe yakamaze n'alumba munne we yabadde n'amufumita ekiso mu kifuba n'amutta. Kato yayongeddeko nti yabadde agezaako okuyamba omukulu oli n'amwesimattulako n'adduka ng'agenda ayita mikwano gye ku muliraano wabula olwatuuse mu luggya w'addukidde n'agwa wansi baagenze okumutuukako ng'afudde.

Abatuuze baavumiridde eky'omwana okutta munne era baagezezzaako okumunoonya n'abula nga bagamba nti omwana attiddwa y'abadde alabirira jjajjaawe.

Poliisi okuva e Lugazi ng'ekulembeddwa akulira bambega baayo mu disitulikiti y'e Buikwe, Prossie Namukasa bazze ne beekebejja byonna ebyabaddewo oluvannyuma ne batwala omulambo mu ggwanika ly'eddwaaliro e Kawolo nga n'okunoonya omwana eyasse munne bwe kugenda mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...