TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba LDU bakubye mutabani wa Gen. Gutti n'abalala 2 amasasi

Aba LDU bakubye mutabani wa Gen. Gutti n'abalala 2 amasasi

Added 26th March 2020

Aba LDU bakubye mutabani wa Gen. Gutti n’abalala 2 amasasi

ABA LDU bakubye abateeberezebwa okubeera ababbi babiri amasasi mu Kampala ne batwaliramu ne mutabani wa Lt. Gen. Andrew Gutti, ssentebe wa kkooti y'amagye. Ababbi be baakubye mu Kampala, omu baamukubidde Kawempe ate omulala Kololo mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri.

Ow'e Kawempe, ye Simon Sserwadda ate gwe baakubidde e Kololo, abadde tannategeerekeka mannya. Omwogezi w'ekibinja kya UPDF ekisooka, Maj. Biral Katamba yagambye nti ku ssaawa 9:00 ez'ekiro, omuzigu eyabadde n'ebisumuluzo yalumbye amaka ga polofeesa Vincent Ssembatya n'ayingira kyokka abakkamera ne bamulaba.

Yagambye nti, abeebyokwerinda baayanguye ng'akyali munda kyokka n'alumba omu ku baserikale ng'ayagala kumutema kwe kumukuba amasasi agaamuttiddewo.

Yagasseeko nti, omulala Yagaseeko nti, omulala gwe basse, yayingiridde omutuuze ng'ali n'ekibinja ky'ababbi abalala ne babba ebintu era mu kikwekweto kye baakoze, omu kwe kumukuba amasasi mu bitundu by'e Kawempe.

MUTABANI WA GUTTI Jonathan Lomelo 25, mutabani wa Lt. Gen. Gutti, yasangiddwa mu kaduukulu ka poliisi ng'afudde oluvannyuma lw'okutulugunyizibwa aba LDU mu disitulikiti y'e Napak.

Lomelo, y'omu ku bajaasi ba LDU 3,000 abaatwalibwa ku ttendekero ly'amagye mu Olilim okutendekebwa. Okumutulugunya, kyaddiridde Lomelo okukuba akulira etterekero ly'ebyokulwanyisa ebyasi n'adduka aba LDU ne bamukwata.

Ensonga eyavuddeko Lomelo okukuba omukuumi ebyasi tennamanyika kyokka abamu ku baalabye ebyabaddewo baategeezezza nti, baalabye aba LDU nga bagoba Lomelo n'oluvannyuma ne bamulagira awanike emikono kyokka ne batandika okumukuba.

Oluvannyuma, baamukwasizza Brig. Joseph Balikuddembe aduumira ekibinja kya UPDF ekyokusatu yagambye nti, aba LDU bataano okuli n'omuduumizi waabwe baakwatiddwa. Kyokka era yanenyezza ne Lomelo wadde yafudde okukuba munne amasasi ate n'agezaako okutoloka adduke. Akakiiko k'eddembe ly'obuntu kalabudde abeebyokwerinda abadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...