TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze yezza omwana wange n'amufuula muggya wange

Baze yezza omwana wange n'amufuula muggya wange

Added 26th March 2020

Baze yezza omwana wange n’amufuula muggya wange

NZE Josephine Nanteza mbeera Kanyanda mu disitulikiti y'e Luweero. Twasisinkana ne baze mu 2010 e Kanyandalu ku kyalo gye nzaalwa. We nnamufunira, twali twakaawukana ne taata w'abaana bange eyasooka.

Baze yalina ku ssente era yateranga okujja ku kyalo kyaffe ng'alinako abapakasi abamulimira kuba yalina ettaka nga ddene era eno gye twalabaganira n'ankwana ne nzikiriza. Twatandika okubeera ffembi mu maka ge ge yali yazimba ku kyalo okwo n'abaana bange be nnali nzadde mu musajja eyasooka.

Nnali mukyala mukozi era kino kyawaliriza baze okumpa ekibanja ne ntandika okulima n'okulunda ekyayongera ku nfuna yaffe. Mu ntandikwa ebintu byali bitambula bulungi era nga tukolera wamu nga tulima n'okulunda.

Baze yalaba abaana bange banyiikivu mu kulima ebintu bye twaggyangamu ssente, kwe kusalawo okubatwala ku ssomero nga twakamala emyaka ebiri nga tuli mu mukwano. Wakati mu mukwano gwe twalina, baze yansaba muzaalireyo ku mwana ne nzikiriza. Twagezaako buli kimu naye omwana n'agaana. Kino saakitwala ng'ekikulu engeri ffembi gye twalina abaana baffe we twesisinkanira.

Twagenda mu maaso n'obufumbo bwaffe okukkakkana nga tuli mu myaka 10. Ng'omwana wange omuwala amaze okutuula S4, baze yansaba omwana amutwale e Kampala amuteeke mu kisulo ng'asoma ebyemikono ne nzikkiriza n'amutwala. Nga wayise ebbanga, omwana yamuggya mu kisulo nga tambuulidde era nabiwulirira mu hhambo.

Bwe namubuuza yantegeeza nga bw'atakyalina ssente za kisulo wabula alina amaka e Kampala gy'agenda okuva ng'agenda okusoma. Kino saakifaako kuba oli yali yafuuka kitaawe.

Wabula oluvannyuma waliwo abaali bava e Kampala ne bandeetera olugambo nga baze bwe baali beeyagala ne muwala wange. Bino nabiwakanya nga ndabira ddala bano baagala kutwawula ne baze. Wabula nasigala simatidde kwe kusalawo okunoonyereza era nagenda okuwulira nti muwala wange ali lubuto, kwe kubuuza baze oba yali akimanyiiko. Yanziramu nti kabi ki mwekyo? Natumya omwana ajje ambuulire nnannyini lubuto naye n'agaana okujja.

Nga wayise ebbanga, baze yantumira omubaka eyantegeeza nga baze bwe yali ahhambye nti musonyiwe yazadde omwana ebbali era nga yamuzadde mu muwala wange. Bannange katono nfe ennaku. Okuva olwo, baze n'essimu yaziggyako kubanga nnali njagala bye yatuma abinneebuulire.

Wabula nga wayise ebbanga, baze yajja ne ffamire ye ne muwala wange n'omwana gwe yamuzaalamu nga bamuleese okumubatiza. Akeetalo kaali ka maanyi awaka wabula nagenda okwetegereza nga muwala wange ava mu mmotoka ng'asitudde omwana we ng'essanyu libula okumutta.

Olwalaba bino saalinda biddako, nakwatamu byange ne nfuluma amaka kuba bali bandetedde muggya wange gwe nnali sisobola kugumiiikiriza. Okumanya omwana wange yanjooga, yansindikiranga obutambi ng'ali ne baze n'omwana waabwe nga bw'agamba nga bwe yafuna omusajja ow'ebirooto bye.

Ekinnuma ye baze okunziggyako byonna bye twakola ffenna n'abikwasa omugole nga sikkirizibwa wadde okuyunjaayo ettooke

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...