TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kenzo ali mubweraliikirivu olwekirwadde kya COVID-19 ekyeyongedde mu Ivory Coast gyali

Kenzo ali mubweraliikirivu olwekirwadde kya COVID-19 ekyeyongedde mu Ivory Coast gyali

Added 26th March 2020

Kenzo ali mubweraliikirivu olwekirwadde kya COVID-19 ekyeyongedde mu Ivory Coast gyali

 Eddie Kenzo

Eddie Kenzo

OMUYIMBI Eddy Kenzo eby'okuggala ekisaawe ky'enyonyi webijidde nga ali Ivory Coast gye yali agenze okuyimba,ono yagezaako okulaba nga bamukkiriza aje naye nga tekikyasoboka oluvannyuma lw'omukulembeze w'eggwanga okuyisa ekiragiro ekiggala ekisaawe ky'ennyonyi..
 
Ono yateeka obubaka ku mukutu gwe n'agamba nti banange sikyakirizibwa nakudda waffe,olwo abantu ne bamubuuza kye yali agenze okukola ebweru mu kaseera nga ekirwadde kya Corona kitandise okusasana.
 
olwaleero Kenzo afulumizaa ekiwandiiko n'agamba nti, "eri mwe abagamba lwaki natambula okuva mu Uganda mu mbeera eriwo kati mu nsi yona,naye namwe mwali mu kimanyi nti mukaseera wenatambulira embeers teyali mbi e Uganda era buli kimu kyali bulungi,wabula nga Coronavirus atandise okusasana mu Africa.
 
Kenzo agamba yasobola n'okutuuka obulungi mu Ivory Coast gyali kati era n'ekivvulu kye kyeyali agenzeko ekya "Masa 2020" ne kigenda bulungi,oluvanyuma nga ekivvulu kiwedde,bandi ye yalinya enyonyi nedda e Uganda wabula nga ye alina kulinya nyonyi y'akumakya asobole okudda.
 
Ku makya watuuka enyonyi ne zisazibwamu gye yali alina okulinya era teyasobola kubeera nga adda ewaka,mu nsonga gyawadde endala kwekubera nga yalina endagaana gye yali akoze n'omuntu ategese ekivvulu nga tasobola kumala gajisazamu kubanga ye omutegesi wekkivulu yali takisazizamu,singa ekyo yakikola yali alina okusasulira ebyononese byona eby'ekivvulu ate nga yali alaba takisobola kwekwewayo nagenda ayimba mukaseera akazibu ako.
 
Era n'asaba abantu abagamba nti lwaki yafuluma eggwanga mu kaseera akazibu ako,basooke balowozeemu kwebyo byona nga tebanaba kumunenya,wabula n'asaba abantu bekuume,nga bwebesabira era naye bamusabire kubanga gyali emiwendo gy'abantu abafuna akawuka ka Coronavirus gyeyongera buli lunaku.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...