TOP

Coronavirus: Ekibuga Kampala kikalu

Added 27th March 2020

CORONAVIRUS: Bw'oyitako mu kibuga ssaawa zino tolema kwewuunya engeri ekifo ekibadde kikung'aaniramu abantu abasoba mu bukadde n'obukadde gye kifuuse ekikalu nga kati n'abantu osobola okubabalira ku ngalo nti omu, babiri basatu, bana, owookutaano n'olengera mulengere!!

 Ekibuga nga bwe kifaanana kati. Ebifaananyi bya MOSES KIGONGO

Ekibuga nga bwe kifaanana kati. Ebifaananyi bya MOSES KIGONGO

CORONAVIRUS: Bw'oyitako mu kibuga ssaawa zino tolema kwewuunya engeri ekifo ekibadde kikung'aaniramu abantu abasoba mu bukadde n'obukadde gye kifuuse ekikalu nga kati n'abantu osobola okubabalira ku ngalo nti omu, babiri basatu, bana, owookutaano n'olengera mulengere!!

Omusasi waffe ayitiddeko ku Mini price, mu Kikuubo, wuuyo ku ppaaka enkadde n'empya, ku Arua park n'ebifo ebirala nga yonna wakulu nga n'enguudo ezibituukamu nazo nkalu za jjo! 

Enguudo endala okuli; Ben Kiwanuka, Namirembe road, Luwum street, William ne Kampala road omusasi waffe nazo ayiseemu ng'amaduuka amaggule nago ogabalira ku ngalo kuba ebizimbe ebisinga bannannyini byo bagaanye okubiggulawo ekiviiriddeko abasuubuzi abakolerako okukonkomalira ku mbalaza.

Ate engeri enkuba gy'ekedde okutonnya ne gujabagira!  Eyo y'embeera eri mu kibuga Kampala, eyo gy'oli kiri kitya?

covid19 #bukeddessonsomola

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...