TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Coronavirus: Amerika ewadde bannansi baayo bamufunampola buli omu 4,500,000/= bagira bakozesaako

Coronavirus: Amerika ewadde bannansi baayo bamufunampola buli omu 4,500,000/= bagira bakozesaako

Added 27th March 2020

AMERIKA ewadde bannansi baayo bamufunampola buli omu ddoola 1,200/-, ze ssente eza Uganda obukadde 4 n’ekitundu bagira bakozesaako mu kiseera kino eky’okuluma obujiji ekya ssennyiga omukambwe.

 Donald Trump ng'ayogera eri abaamawulire

Donald Trump ng'ayogera eri abaamawulire

Ekirwadde kyakatta bannansi b'eggwanga eryo abasoba mu 1,000 ne kivaako embeera ey'abantu abasoba mu bukadde 75 obutaseguka mu maka gaabwe nga beewala okukwatibwa.

Ssenyiga ono ayitibwa COVID 19 akyeyongera okusaasaana kyokka oluyiira teruli mu Amerika mwokka wabula n'ensi yonna nga kati atuuse mu mawanga 198 era yaakakwata abantu abakunukkiriza mu mitwalo 50 ate ng'abaakafa kati bayingidde mu 22,000.

 

AMERIKA EYISIZZA BBIRIYONI 7,600,000 OKUVUBIRIZA CORONA.

Palamenti ya Amerika eyisizza ensimbi ez'okudduukirira n'okuyamba abantu mu biseera ebyakazigizigi.

Ensimbi zino ze zikyasinze okubeera ennyingi mu byafaayo by'eggwanga eryo nga zigenda kuyamba Bannansi ku mitendera egy'enjawulo okuviira ddala ku bamufunampola okutuuka ku makolero ne bizinensi ennene.

Ssente zino ziri bbiriyooni za ddoola 2,000 nga mu za Uganda ze bbiriyooni 7,600,000. Kuliko ez'okuwa bamufunampola abatudde awaka, era buli muntu asula yekka waakufuna ddoola 1,200 mu za Uganda obukadde 4 n'ekitundu ate abafumbo bafune ddoola 2,400( mu za Uganda obukadde 9).

Buli mwana agenda kuweebwa ddoola 500( ke kakadde 1 n'emitwalo 90 eza Uganda).

Wabula, ssente zino zaakuweeba omuntu afuna omusaala ogutasukka ddoola 75,000 (obukadde 285) omwaka oba abafumbo abayingiza ensimbi ezikka wansi wa ddoola 15,000 (obukadde 570 eza Uganda) omwaka.

Ng'oggyeeko okuyamba ffamire, ensimbi eziyisiddwa Palamenti ya Amerika zigenda kukozeseba mu kuzimba amalwaliro amanene amapya 4, okugassaamu buli ekyetaagisa mu kujjanjaba n'okugula ebikozesebwa mu masaza ga Amerika.

Ensimbi endala zaakuyamba abaamakolero ne kkampuni omuli ez'ebyentambula nga ez'ennyonnyi eziggaddewo ne ziwummuza n'abakozi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...