
Ambulance eweereddwayo Minisita Sam Kuteesa

Eno etuukidde mu kiseera ng'abantu balaajana olw'entambula ng'abalwadde tebalina webayita kutuuka ku malwaliro olw'ekiragiro kya Pulezidenti okuyimiriza entambula ez'olukale ng'abalina emmotoka ez'obwanannyini baawanise ebisale byentambula.

Eno ekwasiddwa Ssentebe wa Disitulikiti eno Dr Elly Muhummuza ku kitebe kya Disitulikiti nga Minisita Kuteesa akiikiriddwa muwala we Shartis Musherure ng'ono ategeezezza nti egenda kuyambako abantu naddala mu masoso g'ebyalo mu kaweefube wokulwanyisa akawuka ka Corona virus n'abasaba bajeyambise bulungi.

Kuno agasseeko n'emmotoka etambuza amazzi eyambeko abatuuze naddala mu kadde kano akokwewala omujjuzo gw'abantu.