TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abachina abaakwatiddwa babagguddeko emisango 11: Basangiddwa n'enfudu

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko emisango 11: Basangiddwa n'enfudu

Added 29th March 2020

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira.

Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango Charles Mansio Twine yagambye nti, okusooka baabavunaanye emisango 11 wabula okusinziira ku bye baazudde oluvannyuma, bagenda kubongerako emisango emirala omuyinza n'okubeera omusango gw'obutujju.

Ku Lwomukaaga, poliisi yayazizza kkalina Abachina bano kwe babadde basula e Kireka mu Municipaali y'e Kira mu Wakiso ne basangayo ebintu eby'enjawulo bye bagamba nti, byandiba nga bibadde bikozesebwa mu butujju oba okutambangula eby'enfuna by'eggwanga.

Ebintu ebyazuuliddwa kuliko; essimu 3,521 kwe babadde basinziira okwogerezeganya n'abantu abatali bamu ku mukutu gwa Wechat, layini z'essimu za Uganda ezitanateekebwa mu ssimu ez'omukutu gwa Airtel 1895 n'eza MTN 230.

Ebirala bye baasanzeeyo kuliko; ebipampagalo by'essimu ezigambibwa okuba nga ze zibbibwa mu Kampala, ebyuma bya kkampyuta nazo eziteeberezebwa okuba nga ze zimu ku zibbibwa mu Kampala, minzani egambibwa okuba nga y'ebadde ekozesebwa okupima essimu, ebyoto ebizungu ebigambibwa nti bye bibadde bye yambisibwa mu kusanuusa amasimu.

Waasangiddwayo ebigirigimba by'olugavu n'eby'enfudu ebigambibwa okuba nga babadde babikukusa okubitwala mu mawanga gye biriko akatale, enfudu mukaaga ennamu nga zino essatu ku zo za mu mazzi ate endala za ku lukalu. Baasanzeeyo n'ebintu ebiteeberezebwa okuba nga bibadde bikukusibwa ne biyingizibwa mu ggwanga nga tebafunye lukusa n'amasimu kika kya Redmi agakolebwa e China kyokka tegakkirizibwa kukozesebwa mu Uganda.

Essimu 3,521 ezimu zaasangiddwa nga layini ezirimu, zawandiisibwa mu mannya ga Bannayuganda. Zonna zaabaddeko ‘charger' ezitavaamu nga ziyungiddwa ku yintanenti. Buli ssimu, yabadde eyungiddwa ku mukutu gwa Wechat.

Twine yagambye nti, omukutu guno, gwaggulwawo Gavumenti ya China bannansi nga bagweyambisa okutambuza ssente n'okuwereza abantu obubaka.

"Abasajja bano babadde basobola okukuteeka mu katego n'obeera ku mukutu ng'oyogera n'abantu 299 ng'olowooza banjawulo naye ng'essimu zonna ezikozesebwa ziri wano." Twine bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, ebiseera ebisinga abantu abatambuza ebitundu by'ebisolo by'omu nsiko, babeera bakukusa ssente ate abalala baba batujju n'agamba nti, banoonyereza okulaba emisango emirala gye bayinza okubaggulako.

Yagaseeko nti, babadde baakola kkopi mu layini z'abantu era baagala okumanya oba layini zino tebaazeyambisa kuzewolerako ssente nga bannanyini zo tebamanyi.

Abaakwatiddwa kuliko; Liao Xiao Feng, Chen Xiao Kang, Chen Jun, Chen Sihong, Wenda Chen, Liu Jun Feng, Zhang You Ming, Tang Lu, Yang Jun, Chen Kang, Wu Guan Yong, Li Jia Zhao, Lin Zhichuan, Luo Xiaozhuang, Li Renzhe. Lu Jinhang, Lin Shaosheng, Lin Yiming, Mao Xueming, Chen Huanhuan, Mao Yajun, Deng Guoguo.

 

 

 

Abalala kuliko; Peng Kun Cai, Li Yan, Huang Jian Yang Miao Xin, Xu Zheng Nan, Lin Zhilong Guo Wei Zheng ne Li Jian, Chen Zhen Qin, Yu Wen Jie, Mi Mi Han, Chen Shu Yam ne Chen Jin Hong.

Bano, ku Lwokutaano baatwaliddwa mu kkooti ku Buganda Road mu maaso g'omulamuzi Marion Mangeni era kkooti yagituuzizza wabweru olw'okutangira okusaasaana kw'ekirwadde kya Covid19 n'abasindika e Luzira.

Twine yagambye nti, abasinga ku bano, bajja mu Uganda wakati wa October 2019 ne February 2020 nga bakozesa viza y'abalambuzi kyokka babadde bakola bizinensi era babadde balina kkontulakiti ze baakoze ne kkampuni za bannayuganda n'endala eza China ezikolera kuno era 12 viza zabwe zaasangiddwa nga zaggwaako.

 

Ekizimbe kwe babadde basula, kya munnabwe You Jing eyafuna obutuuze mu Uganda era naye yakwatiddwa.

Bano okukwatibwa, abatuuze baamala kwekubira mulanga nga March 17, 2020 ku Bachina abeesibidde mu kizimbe poliisi yagenze okutuukayo bye yasanzeeyo yakizudde nti, wabaddewo obumenyi bw'amateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...