TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Museveni gye yagobyemu Doris Akol n'okukuza aba UPDF

Engeri Museveni gye yagobyemu Doris Akol n'okukuza aba UPDF

Added 30th March 2020

Engeri Museveni gye yagobyemu Doris Akol n'okukuza aba UPDF

 Akol eyagobeddwa.

Akol eyagobeddwa.

PULEZIDENTI Museveni agobye abadde akulira ekitongole ky'emisolo ekya URA, Doris Akol n'amusikiza John Musinguzi Rujoki. Akol yalondebwa okukulira URA nga October 27, 2014 okudda mu bigere bya Allen Kagina kati akulira ekitongole ky'ebyenguudo ekya UNRA.

Okuggyibwawo kwa Akol kujjidde mu kiseera ng'alumbibwa okuva mu nsonda ez'enjawulo okuli abasuubuzi abeemulugunya okubabinika emisolo egivuddeko bizinensi nnyingi okuggalwa.

Ensonda mu Minisitule y'Ebyensimbi nazo zibadde zimulumba okulemererwa okumalayo ensimbi ezimusalirwa buli mwaka n'obukuubagano munda mu URA ku nkola y'emirimu. Kyokka abadde n'ekyokulwanyisa eky'okuba nti okuva lwe yajja mu URA, ensimbi eziva mu misolo zibadde zirinnya buli mwaka.

Mu 2015/16 ekitongole kyakuhhaanya bbiriyoni 11,200/-, mu 2018/19 zaalinya okutuuka ku bbiriyoni 16,600/-. Kontulakiti ya Akol yaggwaako mu October 2019, olukiiko olufuzi olwa URA ne lumulagira asigale ng'akola nga bwe balinda okusalawo kwa Pulezidenti.

Kigambibwa nti okusalawo kwa Pulezidenti kwesigamiziddwa ku embeera y'akatyabaga k'ebyenfuna akeeyongedde olwa ssennyiga wa covid-19 nga kyetaagisa omuntu omupya anaaleeta enkyukakyuka.

Ekirala alemeddwa okuggya ensimbi mu byobulimi naddala abanene bangi bwe bayingidde mu kulima n'obulunzi gattako okusuubula ebyobulimi ne bakolamu ensimbi nnyingi naye nga tebaggyibwako musolo.

Kyokka Akol naye abadde n'okwemulugunya nti ebigendererwa ebimuweebwa biri waggulu nnyo. Ekirala waliwo abanene abakozesa ebifo byabwe obutasasula musolo, abagwira abaleeta kuno ensimbi abasonyiyibwa omusolo, gattako abatandikawo emirimu kyokka ne batakola olw'amasannyalaze, amazzi oba enguudo embi.

Waliwo n'amakubo agaalowoozebwa okuvaamu omusolo omungi okuli omusolo gw'essimu OTT, okulwisaawo enkola ya ‘Digital Tax Stamps' ezaalina okutandika nga July 1, 2019 kyokka ne zituuka nga March 1, 2020.

Kigambibwa nti ensimbi endala nnyingi zisaasaanyizibwa abakozi ba URA nga beewa ensako y'okugenda ebweru n'okussaawo pulogulaamu okugeza okusomesa n'okwagazisa abantu okuwa omusolo.

EBIKWATA KU MUSINGUZI Musinguzi addidde Akol mu bigere, abadde muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za tekinologiya ng'alina ofiisi okumpi ne Palamenti. Era ye ssentebe w'olukiiko olufuzi olw'ekitongole kya National Information Technology Authority-Uganda (NITA-U) ekivunaanyibwa ku kulondoola ebya tekinologiya ng'ekifo kino abadde yaakakirondebwamu mu August 2019.

Yakolako mu URA mu kitongole ekirwanyisa okukusa ebyamaguzi ekya ‘Special Revenue Protection Services' nga ye yali avunaanyizibwa ku byensimbi. Alina ddiguli mu kubala okuva e Makerere ne ddiguli eyookubiri mu byakompyuta okuva mu University of Greenwic.

OMUMYUKA WA GAVANA ALONDEDDWA Pulezidenti alonze n'omumyuka wa Gavana wa Bank of Uganda omuggya, Dr. Michael Atingi-Ego ng'adda mu bigere bya Dr. Louis Kasekende eyali mu kifo ekyo okuva mu January 2010 okutuusa mu January 2020. Dr. Atingi- Ego ye mumyuka wa Dayirekita w'ekitongole ekiwozi ky'ensimbi ekya International Monetary Fund (IMF) avunaanyizibwa ku Afrika.

Era dayirekita w'ekitongole kya Macroeconomic and Financial Management Institute of Eastern and Southern Africa (MEFMI) ekivunaanyizibwa ku kuteekateeka n'okulondoola ebyenfuna mu mawanga 14:

Angola, Botswana, Burundi, Kenya, Lesotho, Malawi, Mozambique, Namibia, Rwanda, Swaziland, Tanzania, Uganda, Zambia ne Zimbabwe. Alina ddiguli mu byenfuna okuva e Makerere, ddiguli eyookubiri era mu byenfuna okuva mu University of Wales e Cariff- Bungereza ne ddiguli eyookusatu (Dokita) mu byenfuna okuva mu Liverpool University e Bungereza.

ABA UPDF BAKUZIDDWA Pulezidenti mu bukulu bwe ng'omuduumizi w'amagye ow'oku ntikko yakuzizza b'ofiisa ba UPDF okuli akulira ekitongole ky'amagye ekikessi, Abel Kandiho okuva ku ddaala erya ‘Brigadier' nga kati ‘Major General'. Kandiho yakuziddwa ne b'ofiisa abalala 11 nabo abaafuliddwa ba Major General nga kuliko; Ddiba Ssentongo, Hudson Mukasa, Lucky Kidega, Innocent Oula, Geoffrey Katsigazi, Jack Bakasumba, Charles Okidi, George Igumba, ne Moses Rwakitalate.

Omwogezi w'amagye Brig. Richard Karemire yategeezezza nti b'ofiisa abalala 24 baakuziddwa okuva ku ddaala lya Colonel okudda ku ddaala erya Brigadier.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...