TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu 1,000 bafudde Corona mu lunaku lumu mu Amerika

Abantu 1,000 bafudde Corona mu lunaku lumu mu Amerika

Added 3rd April 2020

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu awaka abuddizza Bagavana mu masaza.

Wabula waatuukidde ku mbeera eno nga Amerika efiiriddwa omwana ow'emyezi omukaaga agambibwa okubeera nti ye muntu akyasinga obuto mu nsi yonna okufa ekirwadde kya Coronavirus.

Omuwendo w'abaakakwatibwa ssennyiga omukambwe mu nsi yonna kati gukunuukkiriza akakadde kalamba.

Okusinziira ku bakugu okuva mu Johns Hopkins University, we bwakeeredde eggulo ng'abantu 938,348 bebalangiriddwa okubeera nga bakwatiddwa.

Omwana ow'emyezi omukaaga eyafudde yabadde w'essaza ly'e Connecticut mu Amerika okusinziira ku gavana waayo, Ned Lamont.

Kino kireeta omuwendo gw'abaakakwatibwa ssennyiga omukambwe mu Amerika wokka okubeera abantu 216,000 ate omuwendo gw'abafudde mu Amerika wonna bali 5,139.

Amasaza ga Amerika Corona gy'asinze okugoya mulimu erya New York nga lye lisinze okufiirwa abantu ne kuddako erya New Jersey ne Michigan liri mu kyakusatu mu kufiirwa abantu.

Ku Lwokusatu lyafiiriddwa abantu 337 mu lunaku lumu okusinziira ku byalangiriddwa ku Lwokuna.

Newankubadde ng'embeera eri bwetyo mu Amerika, eggulo mu Yitale abaakafa baabadde 13,155 ate mu Spain nga bali 9,387.

Meeya wa New York, De Blasio yalabudde bannansi ba Amerika mu kibuga ky'akulembera nti akaseera akagenda okusinga okubeera akazibu ennyo kali mu nnaku za wiiki ezijja naddala ku lunaku lwa Ssande ya wiiki eno embeera egenda kubeera nzibu nnyo.

BUNGEREZA NE SPAIN

Bungereza mu lunaku lumu lwokka yayongedde okufuna ensisi bwe yafiiriddwa abantu 563 n'erangirira 4,324 abaakwatiddwa.

Omuwendo gw'abakwatiddwa mu Bungereza wokka gukunuukkiriza 30,000.

Mu kibuga London ekya Bungereza, basanze akaseera akazibu ku ngeri omuwendo gw'abakwatibwa obulwadde gye gweyongera buli kiseera okusinga bwe kyali mu Yitale e Lombardy.

London mu Bungereza buli lunaku olukya omuwendo gw'abakwatiddwa obulwadde gukubisaamu emirundu ebiri kw'abo abaabaddewo olunaku olwayise.

Ekiro ekyakeesezza Olwokuna, mu England wokka abaafudde baabadde 87 ate mu Spain baasabye amagye ga NATO gayambeko mu lutalo lw'okulwanyisa ekirwadde kino ekyakattayo abantu 2,700.

Ng'ovudde ku ludda olw'ebyobulamu, e Bungereza waliyo akasattiro akalala mu by'enfuna n'emirimu kubanga kkampuni y'ennyonyi eya British Airways erangiridde nti egenda kusalako abakozi 36,000 nga tebasasudde.

Kino kyaleeseewo akasambattuko era ebibiina ebirwanirira eddembe ly'abakozi byasitudde enkundi nga bigamba nti kkampuni bw'ebeera eyagala okuwummuza abakozi erina okubasasula.

Kkampuni etutte wiiki nnamba ng'eri mu kunyoolagana n'ekibiina ekigatta abakozi ekya Unite union.

Webwatuukidde ku Lwokuna nga balina okukkaanya kwe batuuseeko era ekiseera kyonna bateeka omukono ku ndagaano olwo abakozi bawummuzibwe.

Ensako gye bandifunye okuva mu kkampuni basuubira okugifuna okuva mu nsawo gavumenti ya Bungereza gye yateekawo okuyambako mu kasattiro kano.

Kkampuni eno yakosebwa nga kkampuni endala zonna bwe zikoseddwa okwetooloola ensi era ennyonyi zaayo zonna zaayimirira.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...