TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emmere etabudde omukozi wa KCCA n'alumako mulirwana we omumwa

Emmere etabudde omukozi wa KCCA n'alumako mulirwana we omumwa

Added 4th April 2020

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko ne bakukuba kujula kumutta .

Tom Anguzo 21 omutuuze w'omu Kibe zooni ng'akola ku mmotoka za KCCA ezisomba kasasiro ye yalumyeko muliraanwa we Ramula Nakanwagi (49) omumwa ng'amulanga okusindiika omwana okubba emmere ye gye yagambye nti ennaku zino okugifuna si kyangu!

 

Nakanwagi yategeezezza nti oluyombo lwatandiisi ku Lwakubiri nga Anguzo abakolako effujjo n'agamba nti kino azze akikola ku buli mupangisa ng'abalangira nti banaku ye alina obusobozi obubalabirira okumala omwaka.
Yagasseeko nti ku Lwokusatu Anguzo yakubye omwana we empi ng'agamba nti abadde agenda kubba mmere ye bwe baamunenyezzako we yakwatidde Shakira Namirembe 20 muwala wa Nakanwagi n'amukuba bubi ekyamuwalirizza okutaasa omwana we kyokka Anguzo obuufu n'abuzza ku Nakanwagi okukkakkana ng'amulumyeko omumwa.
Abatuuze mu kutaasa Nakanwagi baakubye Anguzo kwagala kumutta nga bagamba abayitiriddeko okubakola efujjo , Nakanwagi yaddukidde ku Poliisi y'oku kaleewe nagulawo omusango, Namirembe yagambye nti singa abatuuze tebaayanguye kutaasa nnyina ku Anguzo yabadde amaliridde okumutuga.
Nakanwagi yagguddewo omusango ku fayiro nnamba SD REF: 20/01/04/2020.

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...