
Kalyankolo ng’ali ku kitanda mu ddwaliro lya Herona gye yasooka okujjanjabirwa. (Ebif. Henry Nsubuga)
Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti Cpl. Noah Mukoshi ye yakwatiddwa ng'avunaanibwa gwakukuba David Musisi Kalyankolo n'amuteekako olubale ku mutwe.
Onyango yagambye nti Mukoshi ssaawa yonna waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe oluvannyuma lwa ffayiro okwekebejjebwa omuwaabi wa gavumenti.
Mukyala wa Kalyankolo nga ye Hadija Namutebi yategeezezza Bukedde nti bba abasirikale ba poliisi nga baduumirwa Mukoshi baamuzingiza ng'anaatera okutuuka ewuwe ku kyalo Namayiba mu ggombolola y'e Nakisunga ne bamukuba ne bamuleka ng'agudde avaamu omusaayi oluvannyuma lw'okumuleetako olubale olwamaanyi ku mutwe.
"Yali atambuzza bigere ng'ava e Mukono gye yali akoledde ng'era ssaawa zaali ng'emu n'ekitundu ng'anaatera okutuuka ewaka. Yaggyayo kkaadi y'omulimu n'agibalaga n'ekkameraye n'abategeeza nga bwe yali ow'amawulire kyokka tebaamuwuliriza baagenda mu maaso na kumukuba," bwe yannyonnyodde.
Namutebi yagambye nti olw'okuba obudde bwa kafiyu bwali butuuse, kyali kizibu okufuna entambula ebatuusa mu ddwaliro okutuusa abatuuze lwe baakubira ambyulensi y'eddwaliro lya Herona e Kisoga n'emunona nga we yatuukirayo nga takyamanyi biri ku nsi.
Ku Lwomukaaga, Kalyankolo y'aggyiddwa mu ddwaliro e Kisoga n'ayongerwayo e Kampala mu ddwaliro lya IHK okwongera okumwekebejja oluvannyuma lw'okusigala ng'akaaba obulumi obwamaanyi mu mutwe.
Kyokka Onyango yagambye nti ng'akola siteetimenti, OC Mukoshi yalaze nti Kalyankolo yasangibwa mu bbaala ne banne nga banywa mwenge abalala ne badduka ye n'alemerawo olwo kwe kumukuba ekintu ekyogi ku mutwe ekyamuleetako olubale.
Wabula bino Kalyankolo yabisambazze n'agamba nti Mukoshi anoonya kwejjako musango kwe kwagala okumuteekako obulimba obw'ekika ekyo kuba ye tanywa mwenge ng'ate teyagenda na mu baala kukwatayo mawulire.
Yagasseeko nti obudde obwo buli muntu yali adduka kuyingira mu nnyumba ng'abasirikale bakuba ne gwe basanze ku lubalaza.
RDC w'e Mukono Fred Bamwine yategeezezza nti abasirikale abalala Mukoshi be yali nabo baamulumirizza nti ye kennyini ye yakuba Kalyankolo.
Bamwine yavumiridde ekikolwa kya Mukoshi n'agamba nti alina okuvunaanibwa kuba ebikolwa ng'ebyo eby'ekisiiwuufu by'empisa byonoona ekifaananyi kya poliisi nga tebayinza kuleka basirikale ng'oyo kugenda nga tebavunaaniddwa.
N'owamawulire wa Radio Simba e Mukono, Dalton Yiga Matovu naye yakubibwa bubi nnyo abasirikale ba LDU bwe baamusanga ng'aweereza amawulire ku leediyo eg'embeera ya kafiyu ng'obudde bw'abantu obuyingira mu mayumba butuuse.
Matovu yaloopa omusango ku poliisi omwali n'okubbibwako ebintu bye omwali n'ensimbi kyokka yategeezezza nti poliisi oluvannyuma yamuyita n'emuddiza ensimbi ze.