TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Golden Impact SC bassatira lwa nnannyini lya kisaawe kuzimbamu mayumba

Aba Golden Impact SC bassatira lwa nnannyini lya kisaawe kuzimbamu mayumba

Added 6th April 2020

ABADDUKANYA, abazannyi n’abawagizi ba ttiimu ya Golden Impact SC, bali mu kasattiro olwannannyini ttaka okubadde ekisaawe kya ttiimu yaabwe okutandka okukizimbamu amayumba nga mu kiseera kino tebamanyi kiddako.

Ekisaawe kino kisangubwa ku kyali Kyungu, mu Mukono ng'akulira ttiimu eno, Samuel Odongo agamba nti bamaze emyaka nga bakozesa ekisaawe kino wabula nannyini ttaka lino yatandika okuyiwa ebikozesebwa mu kuzimba kwossa okusima omusingi mu kisaawe ekibalese nga tebamanyi we badda.

Mu ngeri y'emu ettendekero lino liyambye okuzimba ebitono naddala eby'abaana abalenzi n'abawala abatalina mwasirizi abayambiddwa okwegatta ku ttiimu z'amasomero nga Mukono parents' P/S, Craddle land P/S-Kisoga, Dynaic SSS-Ssonde ne Jjeza Campus n'amatendero ga waggulu.

Agamba nti mu kiseera kino tebamanyi we bagenda kuzza baana baabwe okusobola okusigala nga babayamba kuba bangi ku bano bayimiridde ku bitone byabwe ng'okujibwawo kw'ekisaawe kino kigenda kuziika obulamu bwabwe obw'omumaaso.

 

Beemulugunyizza olwa Hajji Katimbo obutabawa kulabulwa n'obudde okusobola okwetegeka okusobola okufuna we basobola okuzza abaana bano obuzikiriza biseera byabwe eby'omumaaso wabula Haji Katimbo ategeezezza nti bano abadde tabamanyi nga bali ku ttaka lye wabula agamba nti alina antegeka yokubawa ettaka awalala we banaasobola okuzannyira.

Ebisaawe eby'enjawulo bizze bisaanyizibwawo ekissa eby'emizannyo mu matigga kuba bannabyamizannyo babulwa aw'okwetendekera okuzibola okukulaakulanya ebitone byabwe okutuuka ku kmtendera gye bayaayaanira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...