TOP

Emmere ya Gavumenti etuuse ku bantu 9000

Added 6th April 2020

Emmere ya Gavumenti etuuse ku bantu 9000

 Resty Nabasinge omutuuze mu Kisenyi nga musanyufu ng’omuserikale ali ne ssentebe w’ekyalo Charles Sekiranda nga bamukwasa emmere ye.

Resty Nabasinge omutuuze mu Kisenyi nga musanyufu ng’omuserikale ali ne ssentebe w’ekyalo Charles Sekiranda nga bamukwasa emmere ye.

WE bwazibidde eggulo ng'abantu 9000 be baakafuna emmere ya Gavumenti okuva ku bantu 2947 abaasooka okufuna ku Lwomukaaga mu bitundu okuli Bwaise I, II ne III. Minisita w'Ebyamawulire, Judith Nabakooba yategeezezza nti ebifo omukuumirwa abantu abatalina mwasirizi n'amalwaliro gonna mu Kampala byakuweebwa enkizo mu nteekateeka y'okugaba emmere ya Gavumenti egenda mu maaso. Enteekateeka ya Gavumenti okugabira abawejjere emmere okusobola okuyita mu mbeera ya Coronavirus yatandikidde Bwaise wakati mu kulabula abakulembeze baleme kugiyingizaamu byabufuzi.

Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda ye yatongozza okugaba emmere ku mukolo ogwabaddewo ku Lwomukaaga era abantu ab'enjawulo ne bawaayo obuyambi okwabadde S.K Mbuga, Smanga Solutions abakolagana ne kkampuni y'ensi yonna eya Motorrola Solutions n'abalala abadduukiridde omulanga gwa gavumenti okuyamba abantu abateesobola abatakyasobola kwetuusaako kyakulya.

Emmere yajjidde ku mmotoka ekika kya tuleera ng'ewerekeddwa abakungu ba gavumenti. Okugaba emmere kwatandikidde mu muluka gwa Bwaise I ne Kisenyi Zooni mu Munisipaali y'e Kawempe.

Kwakulembeddwaamu ebitongole by'okwerinda okuli, poliisi, amagye LDU, ekitongole kya Red Cross, KCCA n'abakulembeze b'ebyalo. Emmere eno abantu bagibasanza waka waabwe era buli obwedda afuna emmere, yabadde asooka kuwandiisibwa, okumanya ebimukwatako n'omuwendo gw'abantu b'alina mu nnyumba, ng'omuwendo gw'olina bye bintu by'oweebwa.

Abantu baafunye ebintu okuli omunnyo, obuwunga kkiro mukaaga, ebijanjaalo kkiro ssatu wabula abakyala abali embuto, abayonsa n'abakadde babadde bongerwako amata g'obuwunga ne ssukaali kkiro bbiri.

Obwedda buli nnyumba efuna ng'eteekebwako laama, obutafuna mulundi gwakubiri. Ate LT. Henry Obbo, omwogezi w'eggye ery'oku ttaka, mu Lule Zooni, mu Kawempe yakuutidde abakulembeze b'ebitundu obutayingiza byabufuzi mu nteekateeka ya gavumenti ey'okugabira Bannayuganda emmere.

Yasabye abakulembeze okubeera ekyokulabirako ekirungi mu kaweefube w'okutangira ekirwadde kya Covid -19 muno mulimu; okwewala okubeera mu bifo ebikuhhaanirwamu abantu abangi, okunaaba engalo buli kiseera n'okubeera awaka gye bagenda okubasanza obuyambi bw'emmere.

Benny Namugwanya, minisita omubeezi owa Kampala yasabye abatuuze okukolagana n'ebitongole byonna ebiri mu nteekateeka eno era babeesige kubanga emmere ejja kubatuusibwako mu maka gaabwe.

Kyokka abantu abamu baawuliddwa nga bagamba nti gavumenti ebawadde emmere, kyokka kwabaddeko ebyabuzeeko nga amanda aganaagifumba. Gavumenti eragidde abaana b'oku nguudo Gavumenti eragidde abaana b'oku nguudo bakuhhaanyizibwe ku ssomero lya Nakivubo Blue Primary w'esazeewo okubakuumira n'okubawa emmere mu kaweefube w'okulwanyisa ssennyiga omukambwe. Eragidde aba LC mu Kisenyi, Katwe n'abakulembeze mu bitundu omusangibwa abaana bano bayambeko ku ntegeka eno.

Meeya wa Kampala Central Munisipaali, Charles Sserunjogi, ng'ali n'atwala obutebenkevu, Moses Tashobya, ekibinja ky'abaana ekisoose baakitutteyo ggulo. Sserunjogi yagambye nti tebakyayagala mwana yenna ku luguudo. Sserunjogi yategeezezza nti Gavumenti yabawadde emmere n'ebimu ku bikozesebwa okulabirira abaana bano nga babakuumira mu kifo kimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...