TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisitule efulumizza entegeka y'okuggulawo amasomero

Minisitule efulumizza entegeka y'okuggulawo amasomero

Added 6th April 2020

Minisitule efulumizza entegeka y’okuggulawo amasomero

MINISITA w'Ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n'abasomesa essuubi nti singa ekirwadde kya ssennyiga omukambwe (coronavirus) tekyongera kusaasaana mu Uganda, amasomero ga nnassale, pulayimale, siniya n'amatendekero g'abasomesa ba pulayimale gagenda kuddamu okuggulawo nga April 27, 2020.

Wabula yalabudde abakulira amasomero nti kuno kugenda kubeera kusoma kwakumalako lusoma olusooka nga tewali akkirizibwa kusasuza bazadde ssente ndala ezaawukana ku fiizi ze baalina okusasula mu lusoma olusooka.

Abayizi bwe banaabeera bazzeemu okusoma mu kiseera ekiragiddwa baakufundikira olusoma olusooka nga June 12, 2020. Minisita yagaanyi amasomero okuwa abayizi ebigezo ebimalako olusoma olusooka n'abalagira bakozese obubonero abayizi bwe bazze bafuna mu bisomesebwa mu kibiina buli lunaku bakolemu lipooti y'omuyizi ey'olusoma olusooka. Olusoma olwokubiri lujja kutandika nga June 22, 2020 lukomekkerezebwe nga September 4, 2020.

Olusoma olwokusatu lujja kutandika nga September 21 okutuuka nga December 19, 2020. Oluwummula olw'olusoma olusooka n'olwokubiri zigenda kubeera nnyimpi okusobozesa abayizi okumalayo bye bateekeddwa okusoma omwaka guno. Yunivasite zonna n'amatendekero agaawaggulu ziragiddwa okwetegeka okuddayo okumaliriza olusoma luno okutandika nga May 2, 2020.

Wano minisita weyasinzidde n'alabula yunivasite zonna ezibadde zikaka abayizi n'abazadde okusasula ssente z'ebigezo nti bagenda kubikolera ku mikutu gya yintanenti okukikomya mbagirawo.

Yagambye nti abayizi bangi tebalina ssente wadde ebyuma ebibasobozesa okukolera ebigezo ku yintanenti n'alagira abakulira amatendekero okuggla nga balindako okutuusa ng'eggwanga livudde mu katyabaga k'ekirwadde kya Coronavirus.

Omwezi oguwedde nga March 18, 2020 pulezidenti Museveni ng'ayogera eri eggwanga omulundi ogusooka mu nteekateeka z'okulwanyisa n'okutangira ssennyiga omukambwe okusaasaanira eggwanga, yalagidde amasomero gonna n'amatendekero aga waggulu okuggalawo okumala ennaku 30.

Pulezidenti yategeezezza nti abayizi 15,000,000 abali mu masomero kyali kya bulabe okubalekayo kubanga ekirwadde bwe kikwatako omuyizi omu kisobola okusaasaana ku misinde egya waggulu ne kirumya n'okutta abantu bangi. Yawa abazadde ennaku bbiri nga bamaze okuggya abaana mu masomero badde eka.

Ekiseera kye yawadde kiggwaako nga April 20, 2020 era wano minisita w'ebyenjigiriza we yasinzidde n'ategeeza eggwanga nti singa byonna bibeera bigenze bulungi amasomero gaakuddamu okuggulawo ku nnaku ze yalambise waggulu.

Minisita w'ebyenjigiriza bwe yabadde ayogera eri eggwanga yategeezezza nti abayizi abasinga obungi bava waka ne bagenda ku ssomero era bingi ku bikozesebwa mu masomero babigabana. Kuno agattako abayizi abali mu nkambi z'abanoonyi b'obubudamo abakunukkiriza 600,000 be yagambye nti bali mu bulabe kubanga enkambi zino ziriraanye ensalo z'amawanga ag'omuliraano agaamala edda okufuna ekirwadde kya ssennyiga omukambwe nga kyangu okukwata abayizi ne bakisaasaanya.

SINGA AMASOMERO TEGAGGULAWO KIKI EKIDDAKO?

Okusinziira ku kitongole kya UNESCO, amawanga 165 okwetooloola ensi yonna gaggaddewo amasomero ekikosezza abayizi obukadde 516 nga kuliko n'aba Uganda obukadde obusoba mu 15 mu masomero 73,000 n'abasomesa 548,000. Minisitule y'ebyenjigiriza yataddewo akakiiko kanoonyereze era kasalewo kiki ekirina okukolebwa ng'eri wamu ne gavumenti z'ebitundu era bino bye basazeewo:

lOkusomesa buli akwatibwako okuli abayizi, abazadde, abasomesa n'abantu baabulijjo okubateekateeka mu kiseera kino ekyakasambattuko.

l Yawadde abakulu b'amasomero bonna bye balina okugoberera mu kiseera kino ng'amasomero maggale.

l Buli mukulu wa ssomero n'abakulira ebyenjigiriza ku disitulikiti baabalagidde okwongera okuwaayo ebibakwatako mu bujjuvu okusobola okubawuliza amangu.

l Minisitule ng'eri wamu n'ekitongole ekiteekateeka ebisomesebwa (NCDC) bateeseteese ebiyinza okuweebwa abayizi ne beesomesa mu kiseera kino ekizibu.

l Minisitule eragidde enkiiko ezikulira yunivasite n'amatendekero aga waggulu okukakasa nti abayizi bafuna ebibayambako okubeerako ne bye basoma mu kiseera kino ng'amatendekero maggale.

l Minisitule ekolera wamu n'abakulira amasomero aga pulayimale ne siniya okulondayo abasomesa ab'enkizo bateeketeeke ebiyinza okusomesebwa abayizi ku leediyo ne ttivvi okwetooloola eggwanga abatalina ebyo bakyasala amagezi engeri gye bayinza okubatuusaako ebyetaago.

EBIRINA OKUKOLEBWA NG'AMASOMERO GAGGUDDEWO:

l Abayizi ba P7, S4 ne S6 balina okukola ebigezo bya mmooko bya mulundi gumu nga babitegekedde ku ssomero. Tewali kuwa bayizi bigezo biteekeddwa kuva bweru wa ssomero kubalagira kubisasulira.

l Yasiimye buli alina ky'akoze wamu n'Obwakabaka bwa Buganda okulaba ng'abayizi basigadde bafuna okusomesebwa ku mikutu gya yintanenti ne ttivvi wabula n'agamba nti kino abayizi batono nnyo abakiganyulwamu.

l Minisitule yaakufulumya enteekateeka ennambulukufu amasomero gonna gye ganaagoberera era abasomesa abaalondeddwamu baakugenda ku mikutu gya leediyo ez'ebitundu ne ttivvi. nga bajja kuba bejjukanya kw'ebyo abayizi bye baasomesebwa.

l Abazadde bakubiriziddwa okwongera okuwa abayizi obudde babayigirize emirimu egy'enjawulo ng'okufumba, okulima, okukola ebyemikono n'okuyonja awaka mu kiseera nga kino nga bakyali eka.

Bayige okuyimba, ebyemizannyo, okulunda, okubabuulirira n'okubanyumiza emboozi ezizimba. Yasabye buli muntu okugenda mu maaso ng'agoberera ebiragiro n'okulambikibwa okukolebwa minisitule y'ebyobulamu ku kirwadde kya ssennyiga omukambwe. Era kye bawabula kyakwesigamibwako nnyo okusalawo oba abayizi baddayo ku masomero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....