TOP

'Bw'okwatayo sibala'

Added 6th April 2020

‘Bw’okwatayo sibala’

AKABWA akabbi ddala kagumya mugongo naye ne mwanamulenzi ono eyategeerekeseeko erya Karim eyakubiddwa emiggo naye alabika emiggo yagimanyiira anti yalemeddwa wadde okutonnyeza ezziga. Karim omutunzi w'ebyennyanja ku Kaleerwe abalala gye baabeeredde mu kalantiini nga ye anyiga kabina olw'embooko ezaamukaliriddwa.

Abakolera mu Kizito Market bagamba nti Karim baamugoba mu katale lwa bubbi naye nga yali atunda biviiri bya mpuuta. Okukwatibwa yagenze ku mudaala gwa Nakitto atunda ebyennyanja ebikalu n'abba ebyennyanja bibiri ebinene nga bibalirirwamu 50,000/-. Waliwo omuwala eyamulabye n'ategeeza nnannyini byo eyamuloopye ewa ssentebe w'akatale, Isa Zziwa olwo n'alagira abasuubuzi ne bamukwata. Karim yeegaanyi okubba ebyennyanja ne batandika okumukuba embooko naye nga tanyega.

Bakira buli akoowa ng'akwasa omulala omuggo ne batuuka n'okumugamba nti ssinga akwatayo nga basazaamu zonna ze baabadde bamukubye era nabyo n'abigumira naye era n'agaana okwogera ebyennyanja gye yabitadde.

Baatuuse ekiseera nga balaba batuuse okumussa emiggo ne bamwetoolooza n'akatale abalage gye yabadde atunze ebyennyanja naye ne yeerema okutuusa bwe baamwesonyiye. Wabula baamulagidde obutaddamu kulinnya mu katale kano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...