TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Mukono batandise ekifo aw'okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

Ab'e Mukono batandise ekifo aw'okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

Added 7th April 2020

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

 Nyanzi ne Ngirani aba Rose form nga ba Mukono emifaliso, kuliko, RDC Bamwine, CAO Nkata ne ssentebe Ssenyonga.

Nyanzi ne Ngirani aba Rose form nga ba Mukono emifaliso, kuliko, RDC Bamwine, CAO Nkata ne ssentebe Ssenyonga.

Disitulikiti y'e Mukono eyongedde amaanyi mu kaweefube w'okulwanyisa ekirwadde kya COVID 19 ekisusse okukaabya abantu akayirigombe mu nsi yonna.

Abakulembera olukiiko olulwanyisa ekirwadde kino mu disitulikiti y'e Mukono okuli ssentebe waabwe nga ye RDC Fred Bamwine baategeezezza nga bwe baatandise ekifo ewookukuumirwa abantu abateeberezebwa okubeera ne COVID 19 okutuusa nga kizuuliddwa nga balina oba ne kikakasiddwa nti tebalina olwo ne bayongerwayo mu malwaliro okuli Mulago, e Nakawa oba Entebe okufuna obujjanjabi.

Bino Bamwine yabyogeredde ku kitebe kya disitulikiti y'e Mukono ku Mmande bwe baabadde bafuna obuyambi obwabaweereddwa kampuni ya Royikems ekola emifaliso gya Rose form okubayamba mu kaweefube gwe baliko ow'okulwanyisa ekirwadde kya COVID 19.

Mu buyambi obwaweereddwayo Ronnie Nyanzi ne Dickson Ngirani ku lwa Royikems kwabaddeko emifaliso 500 ssaako lita z'amafuta ga dizero 2000.

Nyanzi yagambye nti okukola kino baabadde baddamu omulanga gwa Pulezidenti Museveni bwe yavaayo n'asaba abo abalina obuyambi okudduukirira mu kaweefube ono mu ngeri ez'enjawulo.

"Tubaddenga tulaba ku TV ng'ebifo ebimu ebikuumirwamu abantu abateeberezebwa okuba ne COVID 19 nga tebalina bye basulako sso ng'ate ffe tukola mifaliso ne tusalawo okudduukirira mu ngeri eyo," Nyanzi bwe yagambye.

RDC Bamwine yategeezezza nti bukyanga kirwadde kya Corona virus kibalukawo, baliko abantu 192 be baakajja mu bitundu bya disitulikiti eno eby'enjawulo nga bateeberezebwa okuba n'ekirwadde ne babatwala mu malwaliro ag'enjawulo okuli Mulago, Entebe n'e Naggulu.

"Ekirungi ku bano tetufunangako mawulire mwali mubaddemu kko ku balwadde. Twagala buli lunaku okwongeramu amaanyi mu kaweefube kuba Mukono tulina abantu bangi abaava mu nsi z'ebweru ewali ekirwadde ekyo," bwe yannyonnyodde.

Wabula yasiimye aba Royikems olw'okubawa amafuta n'agamba nti babadde ne ambyulensi naye nga teziriimu mafuta sso nga buli kiro bafuna abakyala ab'embuto 30 ababa beetaaga okuddusibwa mu malwaliro ag'enjawulo mu budde buno obwa kafiyu.

Ye ssentebe w'akabondo k'ababaka ba palamenti abava mu Buganda Johnson Muyanja Ssenyonga yalabudde Bannayuganda okukomya omuze gw'okukuba abantu ababa bateeberezeddwa okubeera n'ekirwadde kya Corona n'agamba nti abamu ku bano bakubiddwa bubi nnyo ate ne bakeberebwa nga tebalina na kirwadde kya COVID 19.

Ye ssentebe wa disitulikiti Andrew Ssenyonga yasiimye aba Roseform okubayamba okutandika ekifo ew'okukuumira ababa bateeberezeddwa okuba n'ekirwadde kino kuba n'ebifo ebyateekebwawo okuli Mulago, Nakawa n'Entebe nabyo birimu omujjuzo mungi.

Ye meeya wa munisipaali y'e Mukono George Fred Kagimu yategeezezza nti oluvannyuma lw'okufuna emifaliso n'amafuta, kati essira baakuliteeka ku kunoonyeza Bannamukono mmere kuba bangi beekuumidde ewaka  naye ng'eky'okulya tebakirina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...