TOP

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Added 8th April 2020

Bakubye owa LDU mu kafiyu

 Jjuuko owa LDU gwe baakubye ejjinja ku liiso.

Jjuuko owa LDU gwe baakubye ejjinja ku liiso.

AKABINJA k'abavubuka kakasukiridde, abaserikale ba poliisi n'aba LDU ababadde balawuna ekiro amayinja, omu ne limukwasa ku liiso.

Omuserikale wa LDU Willy Jjuuko nga y'omu ku baabadde bassa ekiragiro kya Pulezidenti mu nkola eky'okulaba ng'abantu babeera awaka olw'okutangira ssennyiga omukambwe okusaasaana ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya St. Monica Birongo Health Centre e Lwabenge.

Wakati mu kwerwanako nga balaba amayinja gayiika ng'enkuba baakubye amasasi agaakwasizza Ronald Sserugo ku mukono nga naye ajjanjabirwa mu ddwaaliro lye limu. Ssentebe w'eggombolola eno David Balemeezi Sseggawa yategeezezza amyuka RDC e Kalungu Hajjati Sarah Nanyanzi bwe baabadde ku ddwaaliiro we bajjanjabira abantu bano nti embeera eno lyabaddewo ku ssaawa 2:00 ez'ekiro ekyakeesezza ku Mmande.

Sseggawa yagambye nti akulira poliisi y'e Miwuula ASP Emmanuel Bateise yamutegeezezza nti abavubuka ab'effujjo baabasanze mu kabuga k'e Birongo e Lwabenge mu Kalungu. "Kano akabinja tukamanyi era keeyita "Kasolo Kikoosi" nga kakola effujjo erya buli kika omuli n'okukwata abakazi abakulu n'okusobya ku baana", bwe yategeezezza.

N'agamba nti baabadde baakalwanyisa nga kaggwaamu amaanyi naye bwe keegasseemu bannaabwe abadduse mu Kampala olwa Corona ne kaddamu amaanyi. Sr Nabusubi yagambyre nti eriiso lya Jjuuko lijja kutereera kuba emmunye teyakoseddwa nga n'omukono gwa Sserugo essasi lyaguyise mu nnyama ne litakosa ggumba ng'obujjanjabi bwe bafuna mu kiseera kino bujja kubayamba.

Amyuka RDC Nanyanzi yavumiridde ekikolwa ky'abavubuka eky'okukuba abaserikale nga bali ku mulimu kyokka n'annenya n'abasirikale okwanukuza amasasi. Hajjat Nanyanzi yasabye Bannakalungu okuba abakakkamu nga bagondera ebiragiro ba Pulezidenti ku kulwanyisa ssennyiga omukambwe n'abasaba okwefuga mu biseera bya kafiyu.

Mamma wa Jjuuko, Betty Nakabugo yennyamidde olwa mutabani we eyeewaayo okukuuma abantu ate okumwefuulira bamusaanyeewo. Kyokka ne Mauricia Kazaana n'akiikira ensingo olw'abaserikale okwagala okusaanyaawo obulamu bwa mutabani we Sserugo. Wiiki ewedde abavubuka babiri baakwatibwa nga kigambibwa nti baakuba Paul Chandiya aduumira abajaasi e Mityana ne bamumenya omukono

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nga bateeka omulambo gwa Bisaka (ku ddyo) mu nnyonyi okugutwala e kapyemi. Eyeeyita Katonda alese ebyafaayo.

Eyeeyita Katonda alese ebya...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Owobushobozi Bisaka ziri mu ggiya. Omulambo gwe okuva e Nairobi gwaleeteddwa mu nnyonyi...

Ggaadi eziwedde okukola.

Okwokya ggaadi za bodaboda ...

BW'OZITUNUULIRA kungulu oyinza okulowooza nti ziggyibwa bweru wa ggwanga olw'endabika yaazo ennungi. Ggaadi zino...

Bannabyamizannyo tuleme kus...

LIIGI z’emizannyo zigenda ziddamu okukwajja era kiraabu nnyingi kati zitendekebwa. Empaka z’Amasaza zo mwattu zaagondedde...

Abaserikale abaabadde balawuna ekitundu.

Okulonda e Njeru tekujjumbi...

Okulonda mu mu munisipaali y'e Njeru kusoose kutaataaganyizibwa nkuba ekedde okufuddemba era abalonzi obwedda baamuswaba...

Abawagizi ba NUP nga bakulisa Zaituni maama wa Nsubuga.

Owa NUP gwe baasiba mu kkom...

Muhamad Nsubuga owa NUP eyakwatibwa gye buvuddeko n’atwalibwa mu kkomera e Kitalya awangudde obwa kansala. Bazadde...