TOP

Bannayuganda 400 abali e Dubai baagala kudda

Added 10th April 2020

Bannayuganda 400 abali e Dubai baagala kudda

BANNAYUGANDA 400, batubidde mu bibuga okuli Dubai ne Abu Dhabi, baagala kudda mu ggwanga olwa ssennyiga omukambwe atta enkumi n'enkumi z'abantu mu nsi yonna buli lunaku.

Bano, gavumenti ebakoledde enteekateeka okubazza mu Uganda kyokka omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'abakozi n'ekikula ky'abantu, James Ebintu yagambye nti, balina okugoberera ebiragiro bya Pulezidenti. Yagambye nti, baawandiikidde ebitebe bya Uganda byonna mu Buwalabu ne kkampuni ezitwala abantu ku kyeyo okukola olukalala lwa bannayuganda bonna abatubidde nga bandiyagadde okudda ku butaka.

Yagambye nti, yasabye bamuwe ebikwata ku Bannayuganda bonna mu Buwalabu n'engeri gye bakoseddwamu embeera ya Coronavirus n'agamba nti, ku bye yaakafuna, Bannayuganda 400 mu ggwanga lya United Arab Emirates (UAE) mwokka baamaze dda okwewandiisa okudda ku butaka.

"Naye, olw'obulungi bw'abantu baffe n'obulamu bwabwe, twasazeewo okugoberera ebiragiro bya pulezidenti, sigala w'oli okutuusa nga Gavumenti evuddeyo n'ebiragiro ebiralala," Ebintu bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, mu kaweefube gwe baliko ow'okuwandiika Bannayuganda abali ku kyeyo, basanze obuzibu bw'abantu abaagenda ku kyeyo nga tebayise mu makubo matuufu.

"Bwe tunaamala okubawandiika bonna, Gavumenti ejja kulaba engeri gy'etuuka ku bantu bano nga bwe yakola ku bayizi Bannayuganda abaali basiraanidde mu kibuga Wuhan e China," Ebintu bwe yategeezezza. Bannayuganda abali mu Buwalabu si beebokka abaagala okudda ku butaka, abalala bangi abali mu mawanga okuli China, Italy, Spain, Bungereza, Amerika n'amwanga amalala amaloboozi gaabwe gazze gawulirwa nga balajana olw'embeera ya kalantiini gye balimu.

Wano mu Uganda, abagwira bangi amawanga gaabwe be gakoledde enteekateeka ne babazza ewabwe ekisinze okutabula Bannayuganda abali ku kyeyo nga beebuuza lwaki Gavumenti bbo tebafuddeeko.

Ismael Ssebuggwawo ssentebe w'ekibiina ekigatta Bannayuganda abakolera mu Abu Dhabi yawandiise ng'ategeeza Bannayuganda b'akulembera nti, ku nteekateeka z'ekitebe kya Uganda mu UAE okuwandiika Bannayuganda bonna abaagala okudda ku butaka. "Ambasada agamba buli ayagala okudda eka, yeewandiise ku kitebe kya Uganda oba eri abakulembeze baabwe."

Ssebuggwawo bwe yategeezezza. Waliwo ne Munnayuganda eyagenda okukola obwa makanika eyalajanye nti, ssennyiga yeyongera okusaasaana, Bannayuganda bangi emirimu gyaggwawo dda era tebamanyi kiddako.

ABALWADDE BEEYONGEDDE Ku Lwokusatu, minisitule y'ebyobulamu yategeezezza nti, abalwadde baabadde baweze 53 oluvannyuma lw'okuzuula omukazi omulala n'akawuka ka Coronavirus ku bantu 214 be baakebedde.

Omulwadde owa 53 okusinziira ku dayirekita w'ebyobulamu mu minisitule y'ebyobulamu, Henry Mwebesa, mukazi wa myaka 36, mutuuze w'e Wakiso yava China nga March 21. N'agamba nti, baakakebera abantu 3,534.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC ng'ayogera eri abantu.

Ab'e Bukomansimbi mwewale e...

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala...

Isma yeetondedde Full Figur...

Isma abeera ku mikutu gya sosolo midiya ng'ayogerera banne amafuukule kyaddaaki yeetondedde Full Figure gwe yavuma...

Isma atabukidde Bajjo olw'o...

Isma atera okubeera ku mikutu gya sosolo midiya egy'enjawulo ng'avuma abantu n'okuboogerera ebikankana atabukidde...

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda abakulembeze b'aka...

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde...

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

'Pulezidenti tuyambe ku mug...

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde...