TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eby'omugagga okutulugunya abantu biikwasizza abakungu ba poliisi 4 okuli ne DPC

Eby'omugagga okutulugunya abantu biikwasizza abakungu ba poliisi 4 okuli ne DPC

Added 12th April 2020

Eby'omugagga Abid Alam okutulugunya abantu ku nsonga z'ettaka zikwasiza abakungu ba poliisi bana e Kassanda.

BYA MAGRET ZALWANGO
 
Abakwatiddwa kuliko akulira okunonyereza ku misango mu bitundu bya  Wamala SP Wilber Ostin Wanyama, DPC we kassanda ASP Omellano Daniel , akulira okunonyereza ku poliisi ye kassanda  Beitera Peter nakulira okukuuma fayiro za poliisi Sgt Azale.
 
Lt col Edith Nakalema eyalagidde bano okuwatibwa yategezezza nti bano nga bakolera ku biragiro bya Alam babulankanya fayiro ezigambibwa nti zaggulwawo kumusiga nsimbi ono .
 
Alam nga naye yakwatiddwa ku biragiro bya Nakalema yaggulwako emisango omuli okutulugunya abantu, okukaka omukazi akaboozi mu kirindi ssaako okwonoonya ebintu byabantu.
 
Bino biva ku nkaayaana ku Ttaka ngabatuuze balumiriza musigansimbi ono okwagala okubatwalako ettaka lyabwe olwo naasindika basajja be okukola effujjo ku Bantu ngabayambibwako poliisi ssaako okuddira ebikwata ku fayiro zonna ezimuvunaanibwa nebabikwasa omugagga Alam abatuuze gwebalumiriza.
 
Nakalema yagambye nti bofiisa abaakwatiddwa akakiiko kaakulembera aka state house anti corruption unit nga bakolaganira wamu ne bambega ba poliisi aba CID era naduumira poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola yategezeddwa ku nsonga zino nabakkirizza okukwata bofiisa bano.
 
Yayongeddeko nti bano baguddwako emisango okuli okukwata obubi fayiro zemisango, okwekobaana okuzza emisango ssaako okweyisa mu mpisa ekontana nenkola yemirimu gyabwe.
 
Bofiisa bano baakwatiddwa ku ofiisi za Nakalema mu Kampala gyebabadde bayitiddwa okwenyonyolako nebakwasibwa bambega ba poliisi nebatwalibwa e Kibuli okunyonyola bambega ku biibogerwako.
 
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga nga naye yabaddewo nga bofiisa bano bakwatibwa yategezezza nti okunonyereza kugenda kukolebwa obujulizi bwebunavaayo bofiisa bavunaanibwe mu kkooti.
 
Enanga era yavumiridde bofiisa ba poliisi alema okukola emirimu gyabwe mu butuufu nategeeza nti tebajja kubikkiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...