TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Corona: Amerika efiiriddwa abantu 2000 mu lunaku lumu

Corona: Amerika efiiriddwa abantu 2000 mu lunaku lumu

Added 13th April 2020

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump asobeddwa abantu mu ggwanga lye bwe bongedde okufa nga mu ssaawa 24 ezaakeesezza Olwomukaaga, Amerika yafiiriddwa abantu 2000 obudde ne bwongera okubaddugaalirira.

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald
Trump asobeddwa abantu mu
ggwanga lye bwe bongedde okufa
nga mu ssaawa 24 ezaakeesezza
Olwomukaaga, Amerika yafiiriddwa
abantu 2000 obudde ne
bwongera okubaddugaalirira.
Aba Johns Hopkins University
mu Amerika abalondoola omuwendo
gw'abafudde, abakwatibwa
n'abawonye mu nsi yonna
baategeezezza nti ku bantu 2000
abaafudde ku lunaku lumu, essaza
lya New York lyafiisizzaako
abantu 783!
Gavana wa New York, Andrew
Cuomo yategeezezza nti
kati omuwendo gw'abafa gulabika
tegukyeyongera. Amerika
yayisizza amawanga nga Yitale
ne Spain agabadde googerwako
ng'agakyasinze okufiirwa abantu.
Abantu 530,000 abaakwatiddwa
ekirwadde kya corona
mu Amerika, 80,000 bava New
York. We bwatuukidde eggulo
ng'okwetoloola ensi yonna abantu
1,790,565 bebaabadde baakakwatibwa
ate 109,654 n'abalala
abawera 409,540 bebassuuse.
Eggulo ku ssande ku makya,
Yitale yabadde yakafiirwa abantu
19,468 ate Amerika ng'efiiriddwa
20,608. Dr Anthony Fauci
akulira ekitongole kya US infectious
diseases ekinoonyereza ku
ndwadde enkambwe yagambye
nti newankubadde ng'abantu
bafudde bangi naye kati omuwendo
gw'abakwatibwa gulabika
gugenda gukendeera kyokka
yakubirizza abantu nti amakubo
agakozesebwa okulwanyisa ekirwadde
kino tegasaana kugayaalirwa
naddala enkola eya Tonsemberera''.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...