TOP

Agambibwa okutigomya Seeta bamukutte n'ebibbe

Added 13th April 2020

POLIISI y’e Seeta eggalidde omusajja Isma Kakooza 40, ow’oku kyalo Baggala ku misango egyekuusa ku bubbi ng’ono y’agambibwa okukulira ekibinja ky’ababbi mu kabuga k’e Sseeta.

 Abatuuze nga batikka ebibbe ku mmotoka okubitwala ku poliisi. Mu katono ye Kakooza eyakwatiddwa

Abatuuze nga batikka ebibbe ku mmotoka okubitwala ku poliisi. Mu katono ye Kakooza eyakwatiddwa

y'e Seeta eggalidde
omusajja Isma Kakooza 40,
ow'oku kyalo Baggala ku misango
egyekuusa ku bubbi ng'ono
y'agambibwa okukulira ekibinja
ky'ababbi mu kabuga k'e Sseeta.
Okusinziira kw'akulira poliisi
y'e Seeta, Edward Isanga, bamaze
ebbanga nga baliimisa Kakooza
okutuusa lwe yakwatibwa mu
kiro ekyakeesa Olwokutaano lwa
wiiki eno ku ssaawa nga 6:00
ogw'ekiro, bwe baamusanga
ng'aliko abaserikale abamu abakuuma
ekiro ng'alina by'ababuuza
kyokka ng'essaawa ezo tewakkirizibwa
mmotoka yonna yadde
omuntu atambula ekyabaleetera
okumwekengera.
"Twasembera okumanya
ogubadde n'atugamba nti yali
aliko gw'anoonya wabula tuba
tumutwala ku poliisi atunnyonnyole
ekimutambuza obudde
obwo n'adduka naffe ne tumugoba.
Yatuddusa n'atwetoolooza
ekyalo okutuusa lwe twamukwata
ku ssaawa nga 8:00 ogw'ekiro
ng'alina ekikomera w'ayingidde
nga yeeyaze waggulu ku bbaati
ly'ennyumba," Isanga bwe yannyonnyodde.
Yayongeddeko nti abaserikale
abakuuma ekifo we yasangibwa
oluvannyuma baatemezza ku
poliisi nga Kakooza bwe yaleka
emmotoka ye okumpi ne we
bakolera olwo ne bamuggyako
ebisumuluzo okugiggula ne basangamu
ebissi omwabadde ennyondo,
makansi ezisala amabaati
n'ebyuma ebirala olwo ne bamukaka
okubatwala gy'asula.
Mu maka ge awaasaangiddwa
mukyala we, Birah Nabirabi
n'abaana be abataano, waabaddeyo
ebintu ebibalirirwamu
ensimbi ezisoba mu bukadde
obutaano okwabadde endibota
bbiri ez'engoye, obukutiya
obubadde obukubyeeko ensawo
empya ez'abakyala n'ez'abaana
b'amasomero buna (4)
ebyalaani, (8) TV, firiigi, obudeeya
bw'engatto bubiri, kompyuta, ebya
saluuni n'ebintu ebirala bingi
omuli n'ebitundibwa mu maduuka
nga byonna abadde yabijjuza mu
nnyumba ye.
Omu ku bawala be (amannya
gasirikiddwa) yalumirizza
kitaabwe nti abadde asiiba waka
olwo ekiro n'afuna amasimu era
n'akomawo nga bukya.
"Waliwo ne maama waffe
omuto gwe yali yaakawasa eyali
ayitirizza okumubuuza omulimu
gw'akola, bwe yakoona ku
ky'obubbi yamukuba bubi
nnyo era teyamalawo na
myezi ebiri n'anoba, omwana
n'amumulekera." muwala we bwe
yagambye. Yayongedde okutegeeza
ng'awaka bwe wabadde
wajja emmotoka ekiro ebaddenga
esomba ebimu ku bintu n'ebitwala
oluusi ababitwala ne bamuweerawo
ssente.
Okukwatibwa kwe kwasanyusizza
abatuuze ababadde baagala
okumugajambula kyokka poliisi
n'etabaganya. Abamu ku baliraanwa
be bannyonnyodde engeri
ye n'ekibinja kye gye babadde
babasuza ku bunkenke.
"Nze baasala ebbaati ne
bayingira ne banziba ebintu
byange era mbadde sikyebaka.
Ogusembyeyo bajja mpulira era
bwe nakuba enduulu okufuna
obuyambi bandaalika nga bwe
bagenda okudda. Nsaba poliisi
emwogeze b'akolagana nabo
bakwatibwe," omu ku baliraanwa
bwe yategeezezza.
Kkansala akiikirira ekitundu
kino mu lukiiko lwa ggombolola
y'e Goma, Matia Mutema yeebazizza
akulira poliisi y'e Seeta
olw'okubakwatira omu ku bantu
ababadde baludde nga batigomya
ekyalo era n'asaba bonna abaabulwako
ebyabwe okugenda ku
poliisi y'e Seeta okubifuna.
Akulira poliisi eno, Edward
Isanga yasabye abatuuze
naddala abapangisa okumanya
emirimu abantu baabwe gye
bakola n'abakuutira okubeera
ab'obuvunaanyizibwa mu
nsonga y'okulwanyisa obumenyi
bw'amateeka.
Omukwate yatwaliddwa
ku poliisi e Seeta wakati mu
bukuumi obw'amaanyi ne ttipa
bbiri ezaabadde zikubyeko ebibbe
era n'aggulwako omusango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maj.Bilal Katamba

Bannakampala mukomewo mukol...

AMAGYE gagumizza abantu abakolera mu Kampala nti tewali ajja kutabangula mirembe wadde bizinensi zaabwe noolwekyo...

Maama Kisanja (wakati) ne banne.

Maama Kisanja yawangudde ek...

OKULONDA omukadde agenda okukiikirira abakadde mu lukiiko lw'eggwanga olukulu kuwedde e Luweero era nga Maama Kisanja...

Nancy Kalembe omukazi yekka eyeesimbewo ku bwapulezidenti.

'Sikkaanya na byavudde mu k...

EYABADDE avuganya ku bwa pulezidenti Nancy Linda Kalembe agambye nti si mumativu n'ebyo akakiiko k'ebyokulonda...

Senyomo

Ono akalulu akanoonyeza nju...

Deus Senyomo eyeesimbyewo ku bwannamunigina okuvuganya ku kifo kya kansala mu KCCA ( LC V) mu miruka gya;  Lubaga...

Abamu ku b’eng’anda z’abaafudde nga baaziirana.

Omusajja asse omukazi n'aba...

DOREEN Namutebi 32, afudde alaajana mu muliro ogumusse n'abaana bana e Katooke-Nansana. Moses Ssebadduka nga ye...