TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwe baatumye okutwala omusaayi bamukwatidde mu kwanjula

Gwe baatumye okutwala omusaayi bamukwatidde mu kwanjula

Added 15th April 2020

Gwe baatumye okutwala omusaayi bamukwatidde mu kwanjula

 Mmotoka y’ebyobulamu eyakwatiddwa e Iganga mu kwanjula.

Mmotoka y’ebyobulamu eyakwatiddwa e Iganga mu kwanjula.

Poliisi y'e Iganga, yakutte ddereeva wa mmotoka ya minisitule y'ebyobulamu mu Ankore, Akram Ngobi gwe baabadde batumye okutwala omusaayi gw'abateeberezebwa okubeera ne Corona e Ntebe ku Uganda Virus Research Institute (UVRI) nga bamwanjula e Iganga.

Ngobi yabadde atambulira mu mmotoka kika kya Mitsubishi L200 nnamba UBE 877Y eya minisitule yeebyobulamu etambuza omusaayi gw'abateeberezebwa okuba n'obulwadde bwa Coronavirus.

Olwavudde e Mbarara, yavuze butereevu okutuuka e Iganga gye yabadde yakoze edda entegeka z'okwanjulwa mu maka ga Magidu Osoma Isabirye ku kyalo Buwongo mu ggombolola ye Nakalama.

Abatuuze olwalabye ng'omukolo gugenda mu maaso, kwe kukubira amyuka RDC, Gad Rugaju eyalagidde poliisi okukwata abaabadde ku mukolo. Rugaju yategeezezza nti, omukolo gwabaddeko abantu abasukka mu 30 kyokka abasinga badduse ne bakwata 14 bokka.

Akulira poliisi e Iganga David Ndaula yategeezezza nti, abaakwatidwa baakutwalibwa mu kkooti. Enanga yagambye nti, emmotoka baagisanzeemu ebintu ebyenjawulo okuli n'ebyeyambisibwa mu kukebera Coronavirus.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.